Poliisi enoonya maama ku misango gy’okutimpula baana be emiggo okutuusa okuzirika ng’abalumiriza okubba ssente ze shs 1,000.

Maama anoonyezebwa ye Faridah Nambafu nga mutuuze ku kyalo Solo B mu Monicipaali y’e Busia.

Maama yakutte abaana okuli myaka 10 ne 12 nabasiba emiguwa, era bonna baakubiddwa emiggo okutuusa nga bali mu mbeera mbi.

Baneyiba webatuukidde okutaasa ng’abaana batonnya musaayi ku mitwe, emikono, n’amaggulu nga n’okukaaba, amaanyi gaweddemu.

Ssentebe w’ekyalo Rajab Malaba, agamba nti olw’okutaasa abaana okufa, baddusiddwa ku kitebe kya Poliisi e Busia akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Mmande oluvanyuma gye bagiddwa okutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Busia nga bali mu mbeera mbi.

Ate Gorret Manyi, omu ku batuuze agamba nti omukyala aludde nga yemulugunya nga bba bwe yafuna omukyala omulala nga mu kiseera kino, yabasuula mu nnyumba.

Wabula Paul Ouma akulira ensonga z’abaana ku Poliisi y’e Busia, agamba nti maama aguddwako emisango gy’okutulugunya abaana era okumunoonya kutandikiddewo.

Poliisi egamba nti ebirowoozo nga kivudde ku byenfuna ebikoseddwa olwa Covid-19 ate y’emu ku nsonga lwaki obusuungu, babuzizza ku baana baabwe era bangi ku baana bakubiddwa mu bitundu bye Busia.

Ate Poliisi y’e Walukuba mu kibuga kye Jinja ekutte abantu basatu (3) abagambibwa okwenyigira mu kutigomya abatuuze.

Abakwate kuliko Ronald Wanda, Shafic Pericha ne Brian Onzima, nga bagiddwa ku kyalo kye Soweto mu ggoombolola y’e Walukuba.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga East, James Mubi, abakwate baludde nga benyigira mu kunyakula ensawo z’abakyala, amassimu ku batuuze abali ku mirimu gyabwe nga batambula, okumenya amayumba ne batwala ebintu omuli Ttiivi, ssaako n’okuyingirira abatuuze nga bakutte ebisi omuli ejjambiya ssaako n’ebyambe.

Mubi agamba nti abakwate, bagatiddwa ku Paul Ogesa amanyikiddwa nga Junior, omu ku baludde nga batigomya abatuuze, eyakwatibwa sabiiti ewedde era ku misango gy’obubbi.

Agumiza abatuuze nti Poliisi eyongedde amaanyi mu bikwekweeto, okunoonya bonna abatigomya abantu.

Agamba nti waliwo abaliira ku nsiko era ku misango gye gimu okumenya amayumba n’okubba abatuuze wabula bonna Poliisi erina okubanoonya.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/928113884435858