Waliwo omusuubuzi asimatuse okuttibwa mu disitulikiti y’e Bukomansimbi era atwaliddwa mu ddwaaliro erya Villa Maria mu disitulikiti y’e Kalungu ng’ali mu mbeera mbi.

Omusuubuzi Hassan Mugera ali mu gy’obukulu 30 nga mutuuze we Kyetume mu ggoombolola y’e Kibinge, alumbiddwa abasajja abebijambiya ku ssaawa 10 ez’ekiro.

Abebijambiya, basobodde okusima ekituli mu Garagi okutuuka mu kisenge kye era atemeddwa ebiso mu maaso ga mukyala we Oliva Namukwaya.

Omukyala agamba nti abebijambiya bayingidde nga bali babiri, era bwe yabadde akuba enduulu, omu ku batemu yamusuubiza okumutta.

Wakati mu kulukusa amaziga, omukyala agamba nti abatemu badduse nga balowooza nti bba attiddwa nga yatemeddwa ku mutwe, amagulu, emikono ssaako n’ebitundu ebirala era yasigadde mu kitaba kya musaayi.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Masaka Muhammad Nsubuga, agamba nti omukyala agiddwako sitetimenti era Poliisi, etandiise okunoonyereza ku musango gw’okugezaako okutta omuntu.

Mungeri y’emu agambye nti abebijambiya tebatutte kintu kyonna era agumizza abatuuze okusigala nga bakakamu, poliisi okunoonya abatemu abalumbye omusuubuzi.

Abatuuze nga bakulembeddwamu Kiryowa John, bagamba nti bawangalira mu kutya olw’abatemu okudda mu kitundu kyabwe.

Kiryowa awanjagidde ekitongole kya Poliisi okwongera amaanyi mu kulawuna obudde obw’ekiro, okutangira abakyamu abasukkiridde okweyambisa obudde bwa Kafyu, okutigomya abatuuze.

Poliisi y’e Kakira ekutte abantu 6 abaludde nga batigomya abatuuze ssaako ne Kampuni nga benyigira mu kubba ebintu ebyenjawulo.

Abakwate, okuli Emmanuel amanyikiddwa nga Terror, Sande Dan nga yeeyita Mafia, Joshua Onyango, Dona Frank,  Shaban Mukama ssaako ne Mesema amanyikiddwa nga Wizard basangiddwa n’ebintu eby’enjawulo ebibbe.

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira James Mubi, agamba nti abakwate bagiddwa mu bitundu omuli Mawoito, Kinyoro, Wairaka Central, Nalongo mu ggoombolola y’e Kakira.

Mubi agamba nti baludde nga batwala ebyuma ku luguudo lw’eggaali y’omukka, okubba amafuta okuva mu kkampuni ya sukaali eya Kakira, ebyuma bya masanyalaze n’ebintu ebirala.

Poliisi egumizza abatuuze era Mubi agamba nti ababbi bonna abasigaddeyo, Poliisi erina okubanoonya wadde baliira ku nsiko mu kiseera kino.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/1176047656240752