Kyaddaki Yunivasite y’e Kyambogo evuddeyo ku bigambibwa nti abayizi bagenda kutuula ebigezo bya Semisita esooka, nga bayita ku mitimbagano.
Okuva sabiiti ewedde, waddewo ekiwandiiko ekiri mu kutambula ku mikutu migatta bantu, ekirabula abayizi okwetekateeka omuli n’okuwa ebisale mu budde, ng’essaawa yonna, bagenda kutuula ebigezo nga bayita ku mitimbagano.
Wabula amyuka Chansala ku Yunivasite e Kyambogo Polofeesa Eli Katunguka, asambaze ebiwandiiko ekiri mu kutambuzibwa ku mikutu migatta bantu.

Polof Katunguka agamba nti ‘Senate’ tebannaba kubitesaako wadde okukirowozaako, abayizi okutuula ebigezo nga bayita ku mitimbagano era ebiri mu kutambuzibwa, byonna byabulimba.
Polof Katunguka bw’abadde awayamu naffe, alabudde abayizi okwewala amawulire ag’obulimba, agayinza okubaggya ku mulamwa mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19.
Mungeri y’emu agambye nti wakati mu kulwanyisa Covid-19, Yunivasite ategese amatikkira agasooka nga bayita ku mitimbagano ag’omulundi ogwe 17.
Agamba nti abayizi abasukka 7,000 bebagenda okutikkirwa wakati wa 21 okutuusa 23, omwezi ogujja Ogwomwenda, 2021.
Kyambogo Yunivasite yakoma okutikkira abayizi mu 2019 wabula Polof. Katunguka agamba nti ku mulundi guno, bagenda kweyambisa omutimbagano.
Ate Poliisi y’e Walukuba mu kibuga kye Jinja ekutte abantu basatu (3) abagambibwa okwenyigira mu kutigomya abatuuze.
Abakwate kuliko Ronald Wanda, Shafic Pericha ne Brian Onzima, nga bagiddwa ku kyalo kye Soweto mu ggoombolola y’e Walukuba.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga East, James Mubi, abakwate baludde nga benyigira mu kunyakula ensawo z’abakyala, amassimu ku batuuze abali ku mirimu gyabwe nga batambula, okumenya amayumba ne batwala ebintu omuli Ttiivi, ssaako n’okuyingirira abatuuze nga bakutte ebisi omuli ejjambiya ssaako n’ebyambe.
Mubi agamba nti abakwate, bagatiddwa ku Paul Ogesa amanyikiddwa nga Junior, omu ku baludde nga batigomya abatuuze, eyakwatibwa sabiiti ewedde era ku misango gy’obubbi.
Agumiza abatuuze nti Poliisi eyongedde amaanyi mu bikwekweeto, okunoonya bonna abatigomya abantu.
Agamba nti waliwo abaliira ku nsiko era ku misango gye gimu okumenya amayumba n’okubba abatuuze wabula bonna Poliisi erina okubanoonya.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/928113884435858