Entiisa ebuutikidde abatuuze mu disitulikiti y’e Mukono, ekirombe ky’amayinja bwe kibuutikidde omu ku bakyala era kati z’embuya ezikunta.

Viola Nakato myaka 24, yattiddwa mu kirombe kye Bwefulumya-Kisoga mu ggoombolola y’e Nama ate mukwano gwe Ruth Mbabazi myaka 27, asimatuuse era atwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mukono ng’akoseddwa amaggulu.

Abatuuze bagamba nti ekirombe, kyali kigaddwawo amyuka RDC Richard Bwabye ng’abatuuze basukkiridde okwemulugunya ku mbeera yakyo mu kitundu kyabwe.

Mbabazi ng’asangiddwa mu ddwaaliro, agamba nti wadde asimatuuse, akoseddwa nnyo amaggulu ate omugenzi ettaka, limusangirizza ng’ali mu kulya mmere.

Omugenzi yali mutuunzi wa nkoko e Namawojjolo ku luguudo oluva e Kampala okudda Jinja kyokka olw’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okuyimiriza entambula y’olukale, okuva omwezi Ogwomukaaga, y’emu ku nsonga lwaki yasalawo okudda mu kusima amayinja.

Ate abatuuze nga bakulembeddwamu Rose Namagembe bagamba nti embeera mbi, ey’okunoonya ensimbi okubezaawo amaka, y’emu ku nsonga lwaki bangi ku bakyala begumbulidde okudda mu kusima amayinja mu disitulikiti y’e Mukono.

Mungeri y’emu bagamba nti n’abaana abato beyongedde okwenyigira mu kusima amayinja olw’amassomero, okusigala nga maggale wakati mu kulwanyisa Covid-19.

Omu ku bakyala mu kirombe agaanye okwatuukiriza amannya ge agamba nti Nakato abadde alina muganzi we era yabadde ategese okumukyalirako akawungeezi ka leero kuba abadde amwagala nnyo.

Omukyala agamba nti Nakato okufa ku myaka 24, eggwanga lifiiriddwa nnyo kuba abadde muwala muto.

Ate Poliisi y’e Busia ekutte ssemaka ku misango gy’okutta omusajja era omulambo gwe gusangiddwa ebbali w’ekkubo.

Micah Okiria, nga mutuuze ku kyalo Namayenje mu ggoombolola y’e Busitema mu disitulikiti y’e Busia yakwattiddwa ku misango gy’okutta omuntu.

Okusinzira ku batuuze, omugenzi yalabiddwako akawungeezi k’olunnaku Olwokusatu era yabadde ayogera Luzungu ssaako n’olusoga.

Mu kwekebejja omulambo gwe, gusangiddwako ebiwundu nga n’omutwe gwakubiddwa, ekiraga nti yafudde nga kivudde ku mbeera embi, eyamuguddeko.

Abatuuze nga bakulembeddwamu akulira ebyokwerinda ku kyalo David Okwara, agambye nti omugenzi azuuliddwa ng’ali mu jjiini ez’enjawulo ne ssaati enjeru.

Wabula akulira Poliisi mu ggoombolola y’e Busitema Moses Ahabwe, agamba nti Poliisi esobodde okweyambisa embwa ezikonga olussu okuzuula abatemu era embwa esibidde mu kiraalo ky’ente ekya Okiria, ekiraga nti omusajja webamutidde, omulambo gwe ne bagusuula ebbali w’ekkubo.

Agamba nti Okiria ali ku misango gy’obutemu era okunoonyereza kutandikiddewo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/862396811327523