Kkooti ensukulumu egobye okusaba kwa munnakibiina kya National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) mwabadde ayagalira okukyusa empaaba ye, okuleeta obujulizi obulala.

Kyagulanyi yaduukidde mu kkooti okuwakanya ebyava mu kulonda kw’omukulembeze w’eggwanga lino nga 14, Omwezi oguwedde ogwa Janwali, okwawangulwa munna NRM Yoweri Kaguta Museveni era yawadde ensonga ez’enjawulo omuli ebitongole ebikuuma ddembe okweyingiza mu nsonga z’ebyokulonda, okumulemesa okuba Kampeyini mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo, okutyoboola eddembe ly’obuntu, okusiba abantu be ssaako n’ensonga endala.

Wabula Kyagulanyi yabadde azzeeyo mu kkooti ng’asaba akkirizibwe, okuleeta obujjulizi obulala, obulaga nti Museveni tagwanidde, talina bisanyizo kwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga lino.

Mu kkooti, abalamuzi 9 nga bakulembeddwamu Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo bagobye okusaba kwa Kyagulanyi era bagambye nti bakuwa ensonga zaabwe gye buggya kyokka ensonga ezimu zebandyagadde okwongera mu mpaaba yaabwe, baziteeka mu mpaaba eyasooka.

Mu nsalawo ya kkooti esomeddwa omulamuzi Stellah Arach Amoko, abalamuzi bagambye nti okuwakanya ekya Museveni okwesimbawo nga teyesigamye ku buyinza bwe ng’omukulembeze w’eggwanga, ensonga ebadde empya nga teyali mu mpaaba eyasooka.

Kkooti, ewadde amagezi bannamateeka ba Kyagulanyi okwetekateeka okunoonya obujjulizi obugenda okwesigamwako ku mpaaba eyasooka.

Oluvudde mu kkooti, bannamateeka ba Kyagulanyi nga bakulembeddwamu Medard Lubega Ssegona, bagambye nti wadde kkooti egobye okusaba kwabwe, tewali kuzikiza katandika butandisi.

Mungeri y’emu agambye nti Museveni okuba n’omukono ku nsonga y’ebyokwerinda eri abasirikale abaasindikibwa mu kakiiko k’ebyokulonda, y’e mu ku nsonga lwaki tagwanidde kwesimbawo.

Ssegona

Mu kkooti ya leero, akakiiko k’ebyokulonda kakikiriddwa bannamateeka nga bakulembeddwamu Joseph Matsiko, Eric Sabiiti ne Alfred Okello Oryem, Museveni akulembeddwamu Ebert Byenkya ate Gavumenti akikiriddwa ssaabawolereza wa Gavumenti William Byaruhanga.