Mu kiseera nga bangi ku bannayuganda bakyebuuza ekyavuddeko Sheilah Gashumba okwawukana ne Rickman Manrick, nate Ssenga Kawomera avuddemu omwasi ku nsonga ezo.

Ku wikendi, Gashumba yafulumizza ekiwandiiko ekiraga nti eby’omukwano wakati we ne Manrick biweddewo.

Wabula Ssenga Kawomera agamba nti Sheilah wadde alaga nti alina emyaka 28, muwala mukulu era ategeera bulungi ebintu by’omukwano.

Ssenga Kawomera agamba nti abantu okutambuliza omukwano ku mitimbagano omuli Face Book, Twitter, Tiktok, y’emu ku nsonga lwaki bangi ku bantu abali mukwano bakaaba.

Agamba nti waliwo enjawulo wakati w’omukwano ku mutimbagano n’omukwano omutali mikutu.

Mungeri y’emu agamba nti abantu bakola ensobi, okulowooza nti enneyisa y’omuntu yenna ng’ali ku mitimbagano, y’emu n’omuntu ng’ali mu laavu n’omuntu.

Ssenga Kawomera agamba nti Sheilah Gashumba ayinza okuba ng’alina empisa ze ng’omuntu, nga kizibu nnyo omusajja yenna okusigala.

Agamba mu kiseera kino omuyimbi Manrick ayinza okuba teyejjusa kwawukana ne Sheilah nga kati ayinza okuba yafunye ku mirembe.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=kuXG6M4Sicg