Kabuura akoze ebyafaayo ku Flavia!

Bannayuganda bangi bakyebuuza naye ddala abakyala oba abasajja ki ekibatanula okwenda.

Wosomera bino nga munnamawulire Andrew Kabuura asobeddwa eka ne mu kibira oluvanyuma lw’amawulire okutambula nti abadde ayenda ku mukyala we munnamawulire Flavia Tumusiime.

Kabuura yawasa Tumusiime mu Janwali, 2019 era balina omwana omu kiseera kino.

Mercy, Flavia ne Kabuura

Wabula okuva ku Lwomukaaga, obubaka butambula ku mikutu migatta bantu omuli Face Book, WhatsApp n’endala nga Kabuura abadde ali mu laavu n’omuwala omulala.

Omuwala ye Mercy Twinomujuni ali mu gy’obukulu 30.

Okusinzira ku bubaka ku whatsApp, tewali kubusabuusa kwonna, Kabuura abadde ali mu laavu ne Mercy.

Kabuura abadde alaga nti Mercy muwala mulungi nnyo mu nsonga z’omu kisenge ssaako n’okweyambisa ebigambo ebyenjawulo okuwaana n’okususuuta.

Naye Mercy yani?

Amawulire galaga nti Mercy mukyala mufumbo. Kigambibwa mukyala wa Pasita Philip Tumwebaze mu Kampala ssaako n’ebitundu bye Mbarara.

Mercy ne bba

Amawulire era galaga nti Marcy akolera ku kitebe kya Bufalansa mu Uganda wadde tekinakakasibwa.

Kigambibwa aludde ng’ali mu laavu ne Kabuura oluvanyuma lwa Flavia okufuna obutakaanya ne bba.

Abamu ku mikwano gya Kabuura abagaanye okwatuukiriza amannya gaabwe, bagamba nti omuwala Mercy abadde mukwano gwa Kabuura okumala ebbanga era enkolagana yatandika mpolampola.

Bagamba Kabuura abadde mukwano gwa Mercy okuva mu 2019 era abamu ku mikwano gya Kabuura baali bamanyi mukyala we.

Wadde batya okwatuukiriza amannya, bagamba nti Kabuura ne Mercy baludde nga bali mu laavu emyaka egisukka 2.

Lwaki byafulumye!

Okusinzira ku mikwano gya Mercy, akawungeezi k’olunnaku Olwokuna sabiiti ewedde, ababbi batwala essimu ya Mercy.

Ng’omuntu omulala yenna yafuna okutya kuba essimu mubaddemu ebyama bingi nnyo era yalabiddewo nga WhatsApp zitandiise okutambula.

Flavia ayogedde!

Flavia abadde ayagala nnyo bba Kabuura kyokka waliwo okutya nti bba okwenda, obwesigwa buyinza okukendeera.

Ku mukutu ogwa ‘Twitter’, Flavia agambye nti ye ng’omukyala akoze buli kimu, “I did all I could” wabula tekimanyiddwa oba abadde ayogera ku nsonga za bba Kabuura ne Mercy.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/179864624222891