Abayizi abasukka mu 200 ku Yunivaasite e Kyambogo baddukidde mu kkooti enkulu mu Kampala, okuyimiriza amatikkira ga Yunivaasite.

Abayizi bagamba nti bakooye ejjoogo, Yunivaasite okutekateeka amatikkira ag’e 17 nga tebaliiko.

Amatikkira g’omulundi guno, gakubeerawo mu ngeri ya ‘Science’ wakati mu kulwanyisa Covid-19 okuva sabiiti ejja ku Lwokubiri nga 22, okutuusa ku Lwokuna nga 23 omwezi guno Ogwomwenda, 2021.

Wabula abayizi, bagamba nti kiswaza, Yunivaasite okufulumya ‘List’ y’abayizi abageenda okutikkirwa, nga tekuli mannya gaabwe ate nga batuukiriza buli kimu.

Abamu ku bayizi e Kyambogo

Mu kkooti, basabye okuyimiriza emikolo gy’amatikkira, okutuusa nga Yunivaasite efulumizza ‘List’ entuufu ng’eriko amannya g’abayizi bonna abali mu maziga mu kiseera kino.

Nga bakulembeddwamu munnamateeka waabwe Ronald Bwiire, bagamba nti okusinga abayizi okusigala mu maziga, amatikkira, galina okuyimirizibwa, Yunivaasite okusobola okwetekateeka obulungi.

Munnamateeka Bwiire mu ssuuti

Bwiire agamba nti abakulu ku Yunivaasite balina okuwa abayizi amatu, okuwuliriza ensonga zaabwe, okusinga okulinda embeera okusajjuka.

Ate ssentebe wa LC ey’okusatu e Kyambogo Fahad Bahati agamba nti abakulu ku Yunivaasite basukkiridde okutambuza emirimu gyabwe mu ngeri ewebuula Yunivaasite.

Ssentebe Bahati agamba nti, abasomesa  bakola ku bawala bokka abanyirira, ekyongedde okunyiiza abasiwuufu.

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2021/09/Ssentebe-Bahati.mp3
Ssentebe Bahati

Okuddukira mu kkooti enkulu mu Kampala, basoose ku Yunivaasite e Kiwatule – Banda mu Kampala okulaba engeri gye bayinza ogonjoola ensonga naye tebayambiddwa ekyongedde okubanyiza n’okuva mu mbeera.

Abayizi bagamba nti bategeezeddwa okulinda amatikkira agaddako omwaka ogujja ogwa 2022, ekyongedde okubaggya mu mbeera.

Embeera y’abayizi, ewaliriza n’abamu ku bazadde okubiyingiramu.

Abazadde bagamba nti abasomesa basukkiridde okubayisaamu amasso ku nsonga ezikwata ku baana baabwe.

Abazadde, bagamba nti ebigenda mu maaso ku Yunivaasite, abasomesa basukkiridde okutambuza emirimu gyabwe mu ngeri ya gadibe ngalye.

Omu ku bazadde

Ku nsonga ezo, omwogezi wa Yunivaasite e Kyambogo Reuben Twinomujuni agumizza abazadde okusigala nga bakakamu nnyo ku nsonga z’okutikkirwa.

Twinomujuni agumizza abayizi abatali ku ‘List’ okulinda amatikkira agaddeko omwaka ogujja ogwa 2022 kuba kati ‘List’ yafulumye dda era tewali kigenda kukyuka, amatikkira galina okugenda mu maaso.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/369426654778845