Bakiise ba Palamenti bannakibiina ki NUP Allan Ssewanyana akiikirira abantu be Makindye West ne Muhammad Ssegirinya owe Kawempe North, baddukidde mu kkooti enkulu e Masaka okusaba okweyimirirwa.

Ssewanyana ne Ssegirinya bali ku misango gy’obutemu egyekuusa ku kitta bantu ekiri e Masaka.

Okusinzira ku bitongole ebikuuma ddembe, abantu abasukka 20 bebattibwa mu bbanga lya myezi 2 wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’omwezi oguwedde Ogwomunaana.

Nga basimbiddwa mu kkooti y’omulamuzi asookerwako e Masaka Charles Yeistese sabiiti ewedde, Ssegirinya ne Ssewanyana, baasindikibwa ku Limanda okutuusa olunnaku olw’enkya ku Lwokusatu, nga 15, omwezi guno Ogwomwenda.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Richard Birivumbuka lugamba nti, Ssegirinya ne Ssewanyana benyigira mu kutta Sulaiman Kakooza, Michael Kiza Nswa ne Tadeo Kiyimba ate Robert Ssebyato, wadde baamutema kyokka yasimatukka okufa.

Birivumbuka agamba nti batuula ku Happy Boys, Kalenda ssaako ne Kayanja Rest House mu Kampala, okuteesa ku ngeri y’okutta abantu e Masaka.

Wadde enkya balina okudda mu kkooti esookerwako e Masaka, bannamateeka baabwe nga bakulembeddwamu Abubaker Ssekanjako okuva mu Lukwago and Company Advocates, baddukidde mu kkooti enkulu e Masaka, okusaba omulamuzi abantu baabwe okweyimirirwa.

Mu kusaba, bawadde ensonga mukaaga (6) omulamuzi kw’ayinza okusinzira okuyimbula abantu baabwe omuli okuba nti balwadde era bawadde kkooti ebiwandiiko eraga endwadde zaabwe, balina okukiikirira abantu baabwe nga n’emisango bakyalina okwewozaako.

Ssekanjako agamba nti bafunye abantu abatuufu Ssewanyana ne Ssegirinya okweyimirirwa era tewali kiyinza kubalemesa.

Kkooti etaddewo sabiiti ejja ku Mmande nga 20, omwezi guno Ogwomwenda, okuwuliriza okusaba kwabwe era kuweereddwa omulamuzi Victoria Nakintu Katamba owa kkooti enkulu e Masaka.

Ssegirinya ne Ssewanyana abali ku limanda mu kkomera e Kigo, bali ku misango gye gimu n’abantu abalala abasukka mu 10 omuli Christopher Sserwadda, 23 omutuuze we Nyendo-Mukungwe, Mike Sserwadda ne Jude Muwonge nga batuuze ku kyalo Setaala.

Abalala kuliko Batesta Mutabaazi, Joseph Kayabula, Ashraf Kayinza, Issa Ssebunnya, Moses Kaganda ne Kaboyo Henry nga bonna batuuze ku kyalo Byanjiri mu disitulikiti y’e Lwengo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/369426654778845