Omukyala Zari Hassan y’omu ku bantu abasanyufu mu kiseera kino oluvanyuma lwa mikwano gye, okumutegekera akabaga k’amazaalibwa.
Zari agamba nti yazaalibwa mu September 23, 1980 era yabadde ajjaguza okuweza emyaka 41.

Ng’omuntu omulala yenna omuntu w’abantu, ku kabaga ka Zari, bamutwalidde ebintu eby’enjawulo omuli emyenge egy’ebeeyi.
Akabaga keetabiddwako abantu ab’enjawulo era Zari yabadde musanyufu nnyo olwa mikwano gye okulaga nti bamwagala.