Abakiise ba Palamenti ku ludda oluvuganya bekandaze ne bafuluma Palamenti akawungeezi ka leero nga bawakanya engeri gye baakuttemu abakiise ba Palamenti Allan Ssewanyana ow’e Makindye West ne Mohammad Ssegirinya ow’e Kawempe North, oluvanyuma lw’okuyimbulwa mu kkomera e Kigo.
Okusinzira ku bitongole ebikuuma ddembe, Ssegirinya ne Ssewanyana bazzeemu ne bakwattibwa nga balina emisango gye bateekeddwa okwanukula, egyekuusa ku butemu ssaako n’okulya mu nsi yaabwe olukwe.

Wabula mu Palamenti akawungeezi ka leero, ebadde ekubirizibwa sipiika Jacob Oulanyah, abakiise ba Palamenti okuva ku ludda oluvuganya nga bakulembeddwamu omukulembeze waabwe Mathias Mpuuga era omubaka we Nyendo-Mukungwe, bakangudde ku ddooboozi ku ky’okusiba Ssegirinya ne Ssewanyana nga Sipiika tewali kumutegezaako.

Mpuuga ategeezeza nti kiswaza Palamenti okutambuza emirimu gyayo nga banaabwe, bali ku misango egitamanyiddwa, balemeseddwa okulaba aba famire, abasawo ssaako ne bannamateeka baabwe.

Ate omwogezi w’ekibiina ki Forum for Democratic Change (FDC) era omubaka wa Monicipaali y’e Kira Ibrahim Ssemujju Nganda, asabye sipiika, Palamenti okuyimiriza emirimu gyaayo okutuusa nga banaabwe Ssegirinya ne Ssewanyana bayimbuddwa, wabula sipiika Oulanyah amusabye okutegeeza ku offiisi ye mu butongole nga tannaba ku kyanjula mu Palamenti eyawamu.
Mu Palamenti, ebadde ekutte omuliro, omubaka Theodore Ssekikubo akiikirira abantu b’e Lwemiyaga, naye akangudde ku ddoboozi ku ngeri Ssewanyana ne Ssegirinya gye bakwattiddwamu.

Ssekikubo agamba nti wadde si munnakibiina ki National Unity Platform (NUP) naye betaaga eddembe lyabwe nga kiswaza Gavumenti okudda mu kuwamba abantu baayo.
Ate Ssaabaminisita Robinah Nabbanja bw’ayimuse okwanukula ku nsonga ezo, agambye nti kituufu Ssegirinya ne Ssewanyana bazzeemu ne bakwattibwa era Ssewanyana yagiddwako sitetimenti mu maaso ga bannamateeka be nga ne Ssegirinya kigenda kolebwa essaawa yonna.

Ate Ssaabawolereza wa Gavumenti Kiryowa Kiwanuka bw’ayitiddwa okubaako kyayogera, agambye nti Ssegirinya ne Ssewanyana baakutwalibwa mu kkooti essaawa yonna.
Kiryowa era agambye nti Ssewanyana ne Ssegirinya bakweyongera okukwattibwa singa boongera okwenyigira mu kumenya amateeka ekyongedde okutabula ab’oludda olubuganya.
Amangu ddala Mpuuga alangiridde nti bakooye ejjoogo lya Gavumenti ku ngeri gye baakuttemu abantu baabwe era ku ssaawa 9 n’eddakiika 24 ez’akawungeezi (3:24PM), akulembeddemu ab’oludda oluvuganya bonna okufuluma Palamenti y’eggwanga.
Wakati mu kusakaanya, bayimbye akayimba ka ‘Tuliyambala engule’ aka Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine ssaako n’abamu okwambala obusaati obweru, okuli ekifaananyi kya Ssegirinya ne Ssewanyana, okuwandikiddwa ekigambo ‘Freedom’.

Mpuuga, alemeddeko nti bakooye engeri ebitongole ebikuuma ddembe gye byongedde okutyoboola eddembe lya bannansi.
Olufulumye, Sipiika Oulanyah avimiridde eky’abantu abali mu offiisi za Gavumenti abasukkiridde okutwalira amateeka mu ngalo.

Agamba nti kiswaza, Ssegirinya ne Ssewanyana okukwattibwa, nga tewali kumutegezaako, ekityoboola sseemateeka w’eggwanga.
Oulanyah mu ngeri y’emu avumiridde okusiwuuka empisa okwoleseddwa ab’oludda oluvuganya, okwambala obusaatu obweri mu Palamenti munda nga kiswaza ekitiibwa kya Palamenti n’okuwebuula ekitiibwa kyabwe.
Nga wayise eddakika 6 zokka, ku ssaawa 9 zenyini, Oulanyah ayimiriza Palamenti y’eggwanga okutuusa olunnaku olwenkya ku Lwokusatu (29, Ogwomwenda, 2021) ku ssaawa 8 ez’emisana.
Ssegirinya ne Ssewanyana wadde baabadde bakkiriziddwa okweyimirirwa, bali ku misango egiwerako omuli emisango 3 egy’obutemu, okulya mu nsi olukwe ssaako n’okugezaako okutta abantu, mu kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, 2021, omwafiira abantu abasukka 20.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/4377692359015039
Bya Zainab Ali ku Palamenti