Abasibe mukaaga (6) ku munaana (8) abaakwatibwa ku by’okulumbagana Minisita w’emirimu n’entambula Gen. Katumba Wamala nga 1, Ogwomukaaga 2021 ne batta muwala we Nantongo Brenda ssaako ne Ddereeva we Sgt Haruna Kayondo, baguddwako emisango emiggya 18.

Mu kusooka, bagulwako emisango gy’obutemu ssaako n’ogezaako okutta abantu.

Banno okuli Muhammad Kagugube, Sirimani Kisambira, Abudalllah-Aziz Ramadhan Dunka Kamada Walusimbi, Habib Ramadhan ne Huzaifah Wampa, kkooti ekoze enkyukakyuka mu famiro z’emisango gyabwe ne bagulwako emisango emiggya.

Emisango 18 egibaguddwako kuliko obutemu, okubbisa eryanyi, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju, okwenyigira mu butujju, okuba abatujju ssaako n’emisango emirala.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, abakwate baalumba Cheap General Hardware e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso nga 29, Ogwokutaano, 2019 nga bali ne banaabwe abakyaliira ku nsiko ne batta abantu bana (4) okuli Jimmy Atukuru, Frank Anania, Abaho Frank Mutsinda ne Amim Bugembe ne batwala ssente, obukadde 385.

Mungeri y’emu bali ku misango gy’okutta Burton Okoti nga 27, Ogwokuna, 2019 ku City Shoppers Supermarket e Kanyanya, Mpererwe mu Divizoni y’e Kawempe mu Kampala ne batwala ne ssente obukadde 2 ne mitwalo 20  (2,200,000) okuva ku mutuuze Precious Kayesu n’obukadde 4 n’emitwalo 50 (4,5,00,000) okuva ku Aisha Nakafeero.

Okusinzira ku kiwandiiko ekivudde eri Ssaabawaabi wa Gavumenti  Jane Abodo, abakwate baalumba fakitole y’emigaati eya Denovo e Kalerwe –Kawempe mu Kampala nga 16, September, 2017 ne batta abantu bataano (5) okwali omusikale Special Police Constable Hussein Mubiru ne Moses Kalungi ssaako n’okutta abantu babuligyo Angello Nantongo, Evarest Hakizza ne Edward Ssenyonzi.

Mungeri y’emu wakati wa 2015 n’Ogwomukaaga 2021 baalumba ebitundu ebyenjawulo omuli Kampala, Luweero, Kasese okubba n’okutta abantu nga bakulembeddwamu Hussein Lubwama eyali amanyikiddwa nga ‘Master’ eyattibwa mu kikwekweeto, ekyali kikulembeddwamu, eyali amyuka omudduumizi wa Poliisi mu ggwanga lino Lt. General Paul Lokech kati omugenzi.

Abakwate basimbiddwa mu kkooti y’omulamuzi asookerwako e Nakawa Ponsiono Odwori nga beyambisa enkola eya ‘Zoom’ era baziddwa ku limanda mu kkomera e Luzira ne Kigo okutuusa nga 21, omwezi ogujja Ogwekkumi, 2021.

Wabula munnamateeka waabwe Geoffrey Turyamusiima agamba nti abantu be, okubaggulako emisango emiggya, kiraga nti Gavumenti ebuliddwa obujjulizi ku misango emikadde.

Mungeri y’emu agamba nti bagenda kuteekayo okusaba kwabwe abantu baabwe okweyimirirwa era basabye buli kimu ekikolebwa, okweyambisa enkola eyamateeka.

Omukaaga (6) abaguddwako emisango emiggya bali wamu ne Yasin Nyanzi ssaako ne Hussein Sserubula abasigadde ku misango emikadde.

Gen. Katumba yalumbibwa abasajja abaali batambulira ku Pikipiki ku luguudo lwe Kisota, e Kisaasi mu Kampala ne batta abantu be babiri (2) wabula ye (Katumba), newankubadde yali akubiddwa amasasi mu kibegabega n’emikono , yasimatuka n’omukuumi we Sgt Khalid Kuboit.

Ku misango gyonna, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Rose Aoja lugamba nti lukyanoonyereza.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/416224903201610