Ssenga Kawomera olunnaku olwaleero, asabukuludde ekyama lwaki abasajja begumbulidde okwagala abawala abalina akabina akanene.

Ssenga Kawomera agamba nti omuwala eyagejja akabina naye ng’olubuto si lunene asikiriza nnyo abasajja mu nsi yonna olwa ffiga.

Abasajja singa batunuulira omuwala oba omukazi alina akabina, balowooza ebintu bingi nnyo omuli okuba ng’alina ssupu mu nsonga z’omu kisenge ssaako n’ebbugumu lingi.

Abasajja abamu balowooza nti singa bagenda mu kaboozi n’omukazi ng’alina ebbina eddene, bafuna okumatira kungi kubanga beerabira ddala nga sipanda esumuludde yingini y’omukazi alina ebbina ekivaako okumattira mu mutima.

Abaana balina Work

Okusinzira kw’alipoota eyakoleddwa aba Turkey’s Bilkent University, nga bakulembeddwamu polofeesa David Lewis, abakazi abalina akabina akanene bangi mu Africa nga kivudde ku nsonga ez’enjawulo omuli abasajja okuzaala abaana abangi.

Okunoonyereza era kulaze nti omukazi ng’alina akabina akanene singa azaala omwana, asigala alabika bulungi, tekumukutula nnyo, okusinga omuwala omutono.

Mu Africa, abakazi begumbulidde okunywa eddagala eryenjawulo okusobola okufuna akabina kuba kiyambako okusika amaaso g’abasajja.

Okunoonyereza kulaze nti abazadde mu Africa singa azaala omwana omuwala, alina okumuteeka embira mu kiwato era kigendereddwamu kusonjola bubina bwabwe nga bwe bagenda bakula. Mu mawanga agamu omuli Lendu mu Congo, abakyala tebakkirizibwa kwambala mpale mbu kiyinza okugaana akabina okukula obulungi.

Wabula Ssenga akawomera agamba nti wadde abasajja balina amaddu ku bakazi abalina akabina akanene, buli mukazi wanjawulo nnyo mu nkula ye.

Ekyana kirina ebintu

Kawomera agamba nti singa omusajja yenna afuna omukazi ng’alina akabina akanene, singa bagenda mu nsonga z’okwegatta, alina okufuga amaddu kuba singa bwe kimulema, ayinza okumalamu akagoba ng’akyali ku bisambi.

Mungeri y’emu agamba nti abakyala abalina akabina akanene abasinga banyumirwa engoye kyokka singa afuna omusajja, nga mutono mu butonde, ayinza okulemwa okumutuusa ku ntikko nga tamuwulira.

Ssenga Kawomera alabudde abasajja okwewala okufuna abakyala olw’ekikula wabula okunoonya omuntu ayinza okumutegeera mu mbeera zonna kuba obufumbo wadde ensonga z’omu kisenge mpagi nkulu nnyo mu maka, omukwano okuwangala gwetaagisa ebintu bingi omuli empisa, obuyonjo, obwesigwa, okwerekereza n’ebintu ebirala.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/416224903201610