Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni akangudde ku ddoboozi ku bannayuganda abalemeddeko, okumukanda okuzza abayizi ku massomero okubatangira okufuna embutto.

Mu Uganda, wakati mu kulwanyisa Covid-19 ng’abayizi bali waka, bangi bafunye embuto, okwenyigira mu kunywa ebitamiiza omuli enjaga, ekivuddeko abakulembeze abenjawulo omuli n’abazadde, okusaba omukulembeze w’eggwanga, abayizi okuddayo ku massomero.

Okusinzira ku ntekateeka eyafulumizibwa, abayizi bonna abali ku matekendero aga waggulu, balina okuddayo omwezi ogujja ogwa November ate abasigadde, bakuddayo omwaka ogujja ogwa 2022.

Wabula Museveni agamba nti obulamu businga buli kintu nga yewunya abakulembeze, abalemeddeko nga basaba, abayizi okudda ku massomero.

Bw’abadde ku bikujjuko mu kukuza olunnaku lw’abasomesa ku kisaawe e Kololo, Museveni agamba nti okutaasa abaana okufa, eggwanga lisobodde okweyongerako, olw’abaana abangi abazaaliddwa.

Alabudde abakulembeze ku nsonga y’okuzza abaana ku massomero nti wadde bakuze n’okuzaala, basobola okulinda, kasita ekirungi Gavumenti ye esobodde okubataasa okufa.

Mungeri y’emu alabudde, abakola emirimu egy’enjawulo abakyalinze okubaggulawo mu kiseera kino, eky’okulwanyisa Covid-19.

Museveni anokoddeyo abalina ebbaala, okuba abayiiya okwenyigira mu kulima okusinga okuteeka Gavumenti ku nninga, okubaggulawo, okutambuza emirimu gyabwe mu kano akaseera akazibu.

Eddoboozi lya Museveni

Ate kabiite we era Minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Kataaha Museveni, awanjagidde abasomesa okwagala eggwanga lyabwe n’okwagala emirimu gyabwe okusinga okusuulawo emirimu gy’okusomesa.

Mukyala Museveni agamba nti eggwanga libetaaga newankubadde waliwo okusoomozebwa kw’ekirwadde.

Abasabye obutadduka ku mirimu ng’abasawo webasigadde ku mirimu gyabwe mu kaseera akazibu ak’okulwanyisa ekirwadde.

Ate bbo abasomesa, balemeddeko era bajjukiza omukulembeze w’eggwanga nti betaaga okuboongeza omusaala, nga tewali kusoosowaza abasomesa amasomo ga Science bokka.

Wabula Pulezidenti Museveni mukwanukula, asabye abasomesa  okukomya okumuteeka ku bunkenke nga bamusaba okubongeza omusaala kuba naye kennyini afuna obusente butono kyokka nga ye Pulezidenti mulamba.

Emikolo gikuziddwa mu ngeri ya ‘Science’ nga gyetabiddwako abasomesa abasamusaamu ssaako ne Baminisita abagwa wansi mu byenjigiriza.

Pulezidenti Museveni yaggala amasomero mu March, 2020 olwa Covid-19 okutuuka mu ggwanga.

Uganda mu kiseera kino yakazuula abalwadde ba Covid-19, 124,808 ate 3,179 bebakafa obulwadde.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/298721905093741