Munnamawulire Andrew Kabuura ali ku katale mu kiseera oluvanyuma lw’abantu okutegeera nti yali akola obwenzi ku mukyala we Flavia Tumusiime myaka 32.

Kabuura yayanjula Flavia mu 2019 era balina omwana omu kyokka omwezi oguwedde Ogwomwenda, 2021, yali mu mawulire ku bigambibwa nti yali mu laavu n’omuwala muk’omusajja  Twinomujuni ali mu gy’obukulu 30 okuva omwaka oguwedde ogwa 2020.

Flavia ne Kabuura

Wadde Kabuura musajja mufumbo, Mercy naye mukyala mufumbo era amawulire galaga nti bba musajja munnadiini Philip Tumwebaze mu Kampala.

Mesegi za WhatsApp zaali ziraga nti Kabuura yali atwala Mercy mu loogi mu bitundu bye Kyanja okwesanyusa.

Kigambibwa Pasita Tumwebaze okusulirira amaka, y’emu ku nsonga lwaki Mercy yali mu laavu ne Kabuura nga yetaaga omusajja ayinza okumunazaako enaku y’omu kisenge.

Mu mesegi, Kabuura aliko ekifaananyi kye yasindikira Mercy, okulaga nti mu basajja, ddala musajja Katonda yamuwa ggonya era mu kunywa amazzi, naye emuwa essanyu.

Mercy, Flavia ne bba

Wabula n’omuwala nga yeeyita ‘Barbie_flo_25’ ku Instagram, naye avuddeyo okulaga nti mu kiseera kino ali mu laavu ne Kabuura kuba omusajja alina waaka.

Barbie_flo_25 agamba nti, “I started loving this guy okuva wenamanya nti Kiyine thupu mu Dickson“.

Barbie_flo_25

Ebigambo bye, biraga nti naye yegomba ggonya ya Kabuura era singa afuna omukisa gumu gwokka, ayinza okugiwa amazzi ssaawa 24.

Ate Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naalonda olukiiko olufuzi olw’Abataka oluggya. Lukulemberwa omukulu w’Ekika kye’Ekkobe Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba.

Olukiiko luyimiridde bweruti;

2). Omutaka Nsamba Aloysious Lubega Magandaazi – Memba

3). Omutaka Kidimbo Grace Kizito Bakyayita – Memba

4). Ssaababiito we Kibulala Sam Walugembe – Memba

5). Omutaka Nakigoye Samson Nabbimba – Memba

6). Omutaka Muteesaasira Keeya Ttendo Namuyimba – Memba

7). Omutaka Lwomwa Daniel Bbosa – Memba

Mu bbaluwa eteereddwako omukono Omuwandiisi wa Ssaabasajja Kabaka omukulu ow’ekyama eri Omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba, Ssaabasajja asiimye amannya Omutaka Namwama geyamuweereza mu Lubiri era abo abaalondebwa Omutanda asiimye babeere ku lukiiko olufuzi olwa Ssaabataka oluggya.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/559396568625923