Ebya Ssegirinya ne Ssewanyana, bisigadde wa Katonda!

Ekitongole ekya Poliisi mu butongole kitandiise okunoonyereza ku Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ku ngeri gye yafunamu Dipulooma ku Yunivasite e Makerere.

Kinnajjukirwa nti munnamateeka Male Mabirizi, yaddukira mu kkooti ya LDC mu Kampala ng’awakanya obuyigirize bwa Kyagulanyi ssaako n’engeri gye yayingira ku Yunivasite y’e Makerere, okusoma mu nsoma ey’abakulu.

Kyagulanyi yatikkirwa ku yunivaasite e Makerere emyaka egisukka 20 Dipulooma mu kuyimba, okuzina ne katemba ky’oyinza okuyita (Music, Dance and Drama-MDD) wabula Mabirizi yamutwala mu kkooti okwewozaako.

Munnamateeka Mabirizi agamba nti tekisoboka kuba nga Kyagulanyi  yaweebwa  ekifo asome dipulooma ya MDD nga 21, October, 2000  ku nteekateeka y’abakulu kyokka nga yalina emyaka 20 gyokka.

Bobi Wine ne Munnamateeka Mabirizi

Sabiiti ewedde ku Lwokuna nga 7, omwezi guno Ogwekkumi 2021, Ssaabawaabi wa Gavumenti yeddiza omusango gwo era yasuubiza okunoonyereza okuzuula amazima.

Wabula, Poliisi eragiddwa okunoonyereza ku ngeri Kyagulanyi gye yewandiisa okusoma ku yunivasite e Makerere mu ngeri y’olukujjukujju.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, okunoonyereza kutandikiddewo era waliwo abagiddwako sitetimenti.

Mabirizi agamba nti alina obujjulizi okuva eri Alfred Namoah Masikye akulira eby’okusoma ku Yunivaasite e Makerere.

Masikye alaga nti mu gye 2000, omuntu yenna okuweebwa enteekateeka y’abakulu okusoma, alina okuba waggulu w’emyaka 25 oba ng’omuntu yenna yasoma kyokka nga yali awumudde emisomo okumala ebbanga lya myaka 5, ekiraga nti Bobi Wine yali tasobola kuweebwa mukisa gwonna.

Ate ku nsonga z’abakiise ba Palamenti bannakibiina ki NUP , Allan Ssewanyana owe Makindye West ne Muhammad Ssegirinya owe Kawempe North, olunnaku olwaleero, bazzeemu ne basimbibwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti esookerwako e Masaka Grace Wakooli ku misango egibavunaanibwa.

Ssegirinya ne Ssewanyana bali ku misango egiwerako omuli egy’obutemu, okulya mu nsi olukwe, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju ssaako n’okugezaako okutta abantu, mu kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, 2021, ekyaleka abantu abasukka abasukka 20 nga battiddwa.

Mu kkooti, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Richard Birivumbuka, bazzeemu okusaba omulamuzi okuboongera akadde nga bakyanoonyereza.

Omulamuzi Wakooli akkiriza okusaba kwabwe era Ssegirinya, Ssewanyana ne banaabwe, baziddwa ku limanda, okutuusa nga 27, omwezi guno Ogwekkumi, 2021.

Ssewanyana ne Ssegirinya ku ‘Zoom’ e Kigo

Wabula Ssegirinya, ng’asinzira ku nkola ya ‘Zoom’ mu kkomera e Kigo, agambye nti yalongoseddwa ku Ssande ewedde nga yetaaga obujanjabi, obusinga kw’obo, obuli mu kkomera e Kigo.

Omulamuzi Wakooli  mu kwanukula agambye nti ekkomera, eryasobodde okumulongoosa, kabonero akalaga nti balina obusoobozi, okumujanjaba.

Omulamuzi Wakooli

Wabula oluvudde mu kkooti, munnamateeka waabwe era omubaka omukyala owa Kampala, Shamim Malende, akangudde ku ddoboozi ku ngeri omusango gye gutambula akasoobo mu ngeri y’okunoonyereza ssaako n’abalamuzi ba kkooti enkulu e Masaka, okutya okuwuliriza okusaba kwabwe, abakwate okweyimirirwa olw’omukulembeze w’eggwanga era ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni okuwakanya eky’okuyimbula abantu abakwattiddwa ku misango gya naggomola.

Ku nsonga ezo, omwogezi w’ekitongole ekiramuzi Johnson agamba nti ekitongole ekiramuzi kirina abalamuzi batono era mu kiseera kino bali ku misango gya byakulonda, nga tewali mulamuzi yenna atidde kuwulira ku nsonga Ssegirinyan ne Ssewanyana.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/293660369270668