Emmotoka ya Poliisi ekika kya Loole etomedde omukyala Kalerwe ku luguudo lwa Northern bypass mu Divizoni y’e Kawempe nemutta, ekirese abasuubuzi nga balidde obuwuka.
Penelope Kyomuhedo myaka 24 yattiddwa ku ssaawa nga 1:20 ez’okumakya era emmotoka ya Poliisi edduse.
Okusinzira ku beerabiddeko n’agaabwe nga bakulembeddwamu Wamadi Okanya, Kyomuhendo abadde ku bodaboda era emmotoka ya Poliisi emutomedde eva mabega, olugudde wansi, omutwe gutuukidde ku kolaansi.

Kyomuhendo awoganye emirundi ebiri (2) era omusaayi guvudde mu nnyindo n’amatu okutuusa lw’afudde.
Kyomuhedo kati omugenzi abadde abeera ne Ssengaawe Flavia Muhindo e Kisaasi era abadde akedde kunoonya mulimu ng’aliko ‘interview’ mu Hoteero emu mu Kampala gy’agendako.

Ssenga Muhindo wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti Kyomuhendo aleese omwana wa myaka 2 gyokka.
Ate abasuubuzi b’oku Kalerwe nga bakulembeddwamu Julius Ssekakoni, batabukidde Kampuni ya Mota-Engil Company eri ku ddimu ly’okugaziya oluguudo lwa Northern bypass okukola akasoobo.
Bano, bagamba nti Kampuni eyo, esukkiridde okuziba ekkubo okumala ebbanga eddene nga befudde abakola emirimu, ekivuddeko ebyentambula okusanyalala.
Ssekakoni agamba nti abantu okunoonya webayinza okuyita olwe kkubo okuzibwa, y’emu ku nsonga lwaki ne Kyomuhendo attiddwa.
Omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaaliro ekkulu e Mulago okwongera okwekebejjebwa.

Ate Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti okunoonyereza ku kabenje kutandikiddewo.
Owoyesigyire agamba nti Poliisi y’ebidduka e Wandegeya etandiise okunoonya ddereeva akoze akabenje.
Poliisi y’e Katwe ekutte abantu 58 mu kikwekweeto ky’okunoonya abantu abaludde nga batigomya abatuuze mu bitundu bye Kisangani mu zzooni y’e Masajja, e e Najjanankumbi mu disitulikiti y’e Wakiso.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano ASP Luke Owoyesigyire, abakwate bali ku Poliisi y’e Katwe.
Owoyesigyire agamba nti ababbi babadde beyongedde mu bitundu bye Salaama, Masajja, Mutundwe ne Bunamwaya omuli n’okumenya amayumba.

Mu kikwekweeto, abakwate basangiddwa n’ebintu ebyenjawulo omuli ebiragalaragala omuli enjaga, ejjambiya, giravuzi, ebyeyambisibwa mu kumenya amayumba.
Owoyesigyire agamba nti okunoonyereza kutandikiddewo era essaawa yonna abakwate, bagenda kubatwala mu kkooti.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/293660369270668
Ebifaananyi bya BBSTV