Poliisi mu Kampala ekutte abantu 68 mu kikwekweeto ekikoleddwa mu Kampala wakati.

Ekikwekweeto kikoleddwa mu Kisenyi n’omwala gwe Nakivubo enkya ya leero ku Lwokusatu, abasirikale okuva ku Poliisi ya Kampala mukadde ne Central Police stations (CPS) Kampala.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, abasuubuzi baludde nga bemulugunya ku babbi ku mwala gwe Nakivubo ne mu Kisenyi emisana.

Ababbi banyakula ensawo z’abakyala, amassimu ne bayingira omwala.

Owoyesigyire agamba nti ku bakwate 68, 10 batwaliddwa ku CPS mu Kampala ate 58 ku Kampala mukadde.

Joseph Kyeyune nga mutuuze we Nakulabye addukidde ku Poliisi ya Kampala mukadde okuyambibwa oluvanyuma lwa babbi okutwala ebintu bye, bwe yali mugoteko gw’ebidduka okumpi n’essomero lya Aghan mu Kampala bwe yali ava mu bitundu bye Entebbe mu September 26th, 2021.

Mu sitetimenti ku Poliisi, Kyeyune agamba nti ababbi  baasobola okweyambisa amayinja okwasa endabirwamu y’emmotoka ye ne batwala ensawo eyalimu ssente obukadde busatu (3) ne batwala n’amassimu gonna.

Wiiki ewedde, Poliisi y’e Katwe yakoze ekikwekweeto mweyakwatidde abantu 58 abagambibwa okutigomya abatuuze omuli n’okumenya amayumba mu bitundu bye Makindye.

Ekikwekweeto kyakoleddwa mu bitundu bye Masaja, Salaama, Mutundwe ne Bunamwaya sabiiti ewedde ku Lwokuna.

Poliisi yazudde ebintu ebyenjawulo omuli enjaga.