Kkooti y’e Nakawa, eyongezaayo okuwuliriza emisango gy’abantu omunaana (8) abaakwatibwa ku by’okulumbagana Minisita w’emirimu, munnamaggye Gen Katumba Wamala ne batta muwala we Brenda Nantongo Katumba ssaako ne Ddereeva we Sergeant Haruna Kayondo, nga 1, Ogwomukaaga, 2021 ssaako naye Gen. Katumba okusimatuka okuttibwa mu zzooni y’e Kisasi mu Kampala.

Abakwate nga bali ku limanda mu kkomera e Luzira, balagiddwa okudda mu kkooti nga 4, omwezi ogujja ogwa November, 2021.

Okwongezaayo omusango, kivudde ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Barbra Ochom okutegeeza nti bakyanoonyereza, ekiwaliriza omulamuzi Adwori Ponsiano okubazaayo ku limanda.

Bonna 8 bali ku misango 18, omuli gy’obutemu, obutujju, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju okubbisa eryanyi,  ssaako n’okugezaako okutta abantu.

Mungeri y’emu kkooti enkulu mu Kampala egobye okusaba kwa Sheikh Siraje Yusuf Nyanzi omu ku basibe, abali ku misango gy’okulumba Gen. Katumba Wamala.

Nyanzi yaddukira mu kkooti ng’asaba okweyimirirwa era mu kkooti aleese abantu basatu (3) okuli mukyala we Summayyah Musa Namulindwa, omusuubuzi Jamilu Ssebaduka ne mukwano gwe Yusuf Jumah Ssemigabo nga naye musuubuzi.

Mu kkooti, wadde yawa ensonga ez’enjawulo omuli musajja ssemaka alina omukyala n’abaana 10 nga betaaga okubalabirira, okwewala okutaataganya okunoonyereza ssaako n’okugondera amateeka, omulamuzi Paul Gadenya Wolimbwa agobye okusaba kwe.

Omulamuzi Gadenya agamba nti singa Nyanzi ayimbulwa, ayinza okudduka mu ggwanga n’okutataaganya okunoonyereza.

Ensalawo y’omulamuzi esomeddwa, amyuka omuwandiisi wa kkooti Festo Nsenga.

Wabula munnamateeka wa Nyanzi, Geoffrey Turyamusiima Okuva mu Wameli and Company Advocates, asambaze ebyogerwa nti omuntu we ayinza okudduka mu ggwanga era takanyiza nansalawo ya kkooti.

Omusibe Nyanzi ng’atudde wakati

Abalala abali mu kkomera kuliko Muhammad Kagugube, Sirimani Kisambira, Abudalllah-Aziz Ramadhan Dunka Kamada Walusimbi, Habib Ramadhan ne Huzaifah Wampa ne Hussein Sserubula.

Egimu ku misango, oludda oluwaabi lugamba nti abakwate baalumba Cheap General Hardware e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso nga 29, Ogwokutaano, 2019 nga bali ne banaabwe abakyaliira ku nsiko ne batta abantu bana (4) okuli Jimmy Atukuru, Frank Anania, Abaho Frank Mutsinda ne Amim Bugembe ne batwala ssente, obukadde 385.

Mungeri y’emu bali ku misango gy’okutta Burton Okoti nga 27, Ogwokuna, 2019 ku City Shoppers Supermarket e Kanyanya, Mpererwe mu Divizoni y’e Kawempe mu Kampala ne batwala ne ssente obukadde 2 ne mitwalo 20  (2,200,000) okuva ku mutuuze Precious Kayesu n’obukadde 4 n’emitwalo 50 (4,5,00,000) okuva ku Aisha Nakafeero.

Okusinzira ku kiwandiiko ekyava eri Ssaabawaabi wa Gavumenti  Jane Abodo, abakwate baalumba fakitole y’emigaati eya Denovo e Kalerwe –Kawempe mu Kampala nga 16, September, 2017 ne batta abantu bataano (5) okwali omusikale Special Police Constable Hussein Mubiru ne Moses Kalungi ssaako n’okutta abantu babuligyo Angello Nantongo, Evarest Hakizza ne Edward Ssenyonzi.

Mungeri y’emu wakati wa 2015 n’Ogwomukaaga 2021 baalumba ebitundu ebyenjawulo omuli Kampala, Luweero, Kasese okubba n’okutta abantu nga bakulembeddwamu Hussein Lubwama eyali amanyikiddwa nga ‘Master’ eyattibwa mu kikwekweeto, ekyali kikulembeddwamu, eyali amyuka omudduumizi wa Poliisi mu ggwanga lino Lt. General Paul Lokech kati omugenzi.

Gen. Katumba yalumbibwa abasajja abaali batambulira ku Pikipiki ku luguudo lwe Kisota, e Kisaasi mu Kampala ne batta abantu be babiri (2) wabula ye (Katumba), newankubadde yali akubiddwa amasasi mu kibegabega n’emikono , yasimatuka n’omukuumi we Sgt Khalid Kuboit.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/286599503466349