Omubaka wa Palamenti akiikirira abantu b’e Kajara Timuzigu Micheal, akubye ebituli ku ntekateeka za ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, okuggyawo okweyimirirwa, ku bantu abakwattiddwa ku misango gya naggomola omuli obutemu, obutujju ssaako n’emisango emirala wamu n’okuteeka obuuma obulondoola ebiduuka.

Timuzigu, agamba nti singa baggyawo eky’abantu okuyimbulwa ng’abakwattiddwa, amakkomera, gagenda kujjula gabooge nga tewali kiyinza kulemesa bantu bakyamu okweyongera okuzza ebikolobero.

Agamba nti abakulembeze abavunaanyizibwa ku ky’okulambika empisa balina okuddamu okulambika abantu, okuva awaka, amassomero, masinzizo, okusinga okuyisa amateeka okulinda okubakwata, nga mu kiseera kino, okusiwuuka empisa kweyongedde, ekivuddeko abantu okweyongera mu kuzza ebikolobero.

Ku nsonga y’amateeka, eyali minisita omubeezi ow’ebyobulamu era omubaka omukyala owe Tororo, Sarah Opendi agambye nti Uganda, erina amateeka amalungi ku buli nsonga yonna, era abakulembeze bandibadde bageyambisa okukyusa embeera z’abantu.

Mu mbeera eno Ssentebe w’akakiiko ka Palamenti akalondoola empisa n’obuntu bulamu James Nsaba Butuuro ayagala wateekebwewo akakiiko ak’enjawulo, ng’omulimu gwako kulondoola mirimu egy’obukiiko obulwanyisa enguzi n’ebitongole okuli ekya Ssaabawaabi wa Gavumenti , Kaliisoliiso wa Gavumenti n’ebirala.

Kkooti y’e Nakawa, eyongezaayo okuwuliriza emisango gy’abantu omunaana (8) abaakwatibwa ku by’okulumbagana Minisita w’emirimu, munnamaggye Gen Katumba Wamala ne batta muwala we Brenda Nantongo Katumba ssaako ne Ddereeva we Sergeant Haruna Kayondo, nga 1, Ogwomukaaga, 2021 ssaako naye Gen. Katumba okusimatuka okuttibwa mu zzooni y’e Kisasi mu Kampala.

Abakwate nga bali ku limanda mu kkomera e Luzira, balagiddwa okudda mu kkooti nga 4, omwezi ogujja ogwa November, 2021.

Okwongezaayo omusango, kivudde ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Barbra Ochom okutegeeza nti bakyanoonyereza, ekiwaliriza omulamuzi Adwori Ponsiano okubazaayo ku limanda.

Bonna 8 bali ku misango 18, omuli gy’obutemu, obutujju, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju okubbisa eryanyi,  ssaako n’okugezaako okutta abantu.

Munnamateeka w’abasibe, Geoffrey Turyamusiima ayogedde ku bivudde mu kkooti.