Omubaka omukyala owa Kampala Shamim Malende akiguddeko bw’alumbiddwa abantu basatu (3), enkya ya leero, abatamanyiddwa.

Malende nga mukyala munnamateeka abadde agenda mu kkooti enkulu e Masaka, okubaawo mu kuwuliriza okusaba kwa bannakibiina ki NUP Muhammad Ssegirinya, omubaka we Kawempe North ne Allan Ssewanyana owe Makindye West, okusaba okweyimirirwa ku misango egibavunaanibwa.

Malende ng’asobeddwa

Wabula Malende agamba nti olw’enkuba ebadde efuddemba nga bayingira ekibuga Masaka, bazzeeko ebbaali okulinda enkuba okukya, ekiwadde omukisa abalumbaganyi okubalumbagana.

Emmotoka ya Malende

Abalumbaganyi bazze nga bali mu ngoye eza bulaaka, era emmotoka egiddwamu omukka, okulemesa Malende okweyongerayo era yonna nga bagikubye mu maaso.

Ssewanyana ne Ssegirinya bali ku misango omuli egy’obutemu, okulya mu nsi olukwe, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju ssaako n’okugezaako okutta abantu mu kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, 2021, ekyaleke abasukka 20 nga battiddwa, bakulungudde ebbanga erisukka mwezi omulamba nga bali ku limanda mu kkomera e Kigo.

Wabula oluvanyuma lw’okuddamu ne bakwattibwa omwezi oguwedde, September, 2021, ku misango gy’obutemu amangu ddala nga bayimbuddwa, baddamu okuddukira mu kkooti enkulu e Masaka, okusaba okuddamu okweyimirirwa.

Ssegirinya ne Ssewanyana mu kkooti mu September

Olunnaku olwaleero, omulamuzi wa kkooti enkulu Tweyanze Lawrence akedde kuwuliriza okusaba kwabwe nga basinzira ku nkola ya ‘zoom’ mu kkomera e Kigo.

Ezimu ku nsonga lwaki balemeddeko okusaba okweyimirirwa, mwe muli okukiikirira abalonzi baabwe, bonna balwadde nga betaaga okufuna obujanjabi obusinga kwobo obuli mu kkomera, emisango gikyanoonyerezebwako ssaako n’ensonga endala.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/286599503466349