Ng’abayizi ku matendekero aga waggulu bali mu kwetekateeka okuddamu okusoma, nate minisitule y’ebyenjigiriza alabudde amatendekero gonna okuteeka mu nkola engeri zonna ez’okwetangira Covid-19.

Kinnajjukirwa nti Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni yakkiriza abayizi ku matendekero aga waggulu, okuddayo omwezi ogujja ogwa November era mu kiseera kino abayizi ssaako n’abasomesa bali mu kwetekateeka.

Wabula Minisitule y’ebyenjigiriza n’emizannyo erabudde abakulira amatendekero, obutakkiriza muyizi yenna nga asussa emyaka 18, omusomesa wadde omukozi yenna, okuyingira etendekero nga tagemeddwa.

Okusinzira ku mwogezi wa Minisitule y’ebyenjigiriza n’emizannyo Dr. Dennis Mugimba, omuyizi yenna oba omusomesa nga tagemeddwa, takkirizibwa kuyingira mw’abo, abagemeseddwa era abakulu ku matendekero, balina okukiteeka mu nkola.

Dr. Mugimba agamba nti Hositeero ziyinza okutambuza obulwadde bwa Covid-19 singa bakkiriza abayizi okuddayo nga si bageme.

Ekiragiro kya Pulezidenti Museveni!

Pulezidenti Museveni agamba nti waliwo abantu ab’enkizo, abalina okusooka okugemwa wakati mu kulwanyisa Covid-19 nga bali mu 4,800,000.

Abantu ab’enkizo mwe muli abasawo, abasomesa, abayizi waggulu w’emyaka 18, ebitongole byokwerinda, abakadde ssaako n’abantu abalina obulwadde omuli siriimu.

Pulezidenti Museveni bwe yabadde ayogerako eri eggwanga ku Lwokuna ekiro, yagambye nti alina essubi nti mu Desemba, 2021 obukadde 12 bulina okuba nga bugemeseddwa Covid-19.

Agamba nti abantu balina okuddamu okutambuza emirimu gyabwe mu Janwali, 2022 omuli ebbaala, ebivvulu, abayizi bonna okuddayo ku massomero, abawagizi okudda mu bisaawe, abantu okuddamu okukola emirimu gyabwe n’okulya obulamu.

Pulezidenti Museveni agamba nti, “Omwaka guno wegunagwerako mu Desemba 2021 tujja kuba tufunye ddoozi z’eddagala erigema corona eriwera obukadde 23 nga lino ligenda kugema abantu abawera obukadde 12. Sirowooza nti bannayuganda bagaanye bugaanyi okwegemesa naye tebagambiddwa kyakukola. Njagala okubategeeza nti eddagala erigema gyeliri ku masomero n’amalwaliro era twagala eggwanga lyonna ligulwewo mu Janwali wa 2022. Olw’okuba eddagala erigema COVID-19 weeriri, eggwanga ligenda kuggulwawo mu Janwali wa 2022 si nsonga. Ggwe onaaba mugeme oba nedda, singa ekintu kyonna kinagenda obubi ojakwenenya wekka. Wadde amawanga amalala galumbiddwa ekirwadde kya Corona emirundi egisoba mwena (4) naye Uganda kigirumbye emirundi 2 egyokka

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=V0JI9vD8WjY