Abamu ku bakulembeze e Kawempe nga begatiddwako bannadiini nab’emikwano, bazzeeyo mu nsiko ne balomba edduwa, omutonzi okwanukula essaala zaabwe, omubaka wa Moninicipaali y’e Kawempe North Muhammad Ssegirinya ne Allan Ssewanyana owe Makindye West, okugibwako emisango ssaako n’okuyimbulwa.

Ssegirinya ne Ssewanyana nga bali ku limanda ku misango omuli egy’obutemu, obutujju, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju n’emisango emirala, kyokka kkooti ekyagaanye okubayimbula nga singa bayimbulwa, bayinza okutataaganya okunoonyereza n’okudduka mu ggwanga.

Wabula mu kulomba edduwa mu nsiko e Makerere, abakulembeze nga bakulembeddwamu Kansala we Wandegeya Thomas Bagonza, agamba nti ensonga za Ssegirinya ne Ssewanyana, zikwasiddwa omutonzi, okutaasa embeera.

Nga bali mu kusaba

Bagonza agamba nti abantu bangi ku ludda oluvuganya bali mu makkomera ku misango egy’enjawulo kyokka kkooti zikyagaanye okubayimbula.

Kigambibwa Ssegirinya ne Ssewanyana balina akakwate ku kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, 2021 era abantu abasukka 25 battibwa.

Mu kiseera kino Ssegirinya ali mu ddwaaliro e Luzira erya Murchison Bay ate Ssewanyana ali ku limanda mu kkomera e Kigo.

Ssegirinya ne Ssewanyana mu kkooti e Masaka gye buvuddeko

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Richard Birivumbuka lugamba nti, Ssegirinya ne Ssewanyana benyigira mu kutta Sulaiman Kakooza, Michael Kiza Nswa, Tadeo Kiyimba n’abalala ate Robert Ssebyato, wadde baamutema kyokka yasimatukka okufa.

Birivumbuka agamba nti batuula ku Happy Boys, Kalenda ssaako ne Kayanja Rest House mu Kampala, okuteesa ku ngeri y’okutta abantu e Masaka.

Ssegirinya ne Ssewanyana abali ku misango gye gimu n’abantu abalala abasukka mu 10 omuli Christopher Sserwadda, 23 omutuuze we Nyendo-Mukungwe, Mike Sserwadda ne Jude Muwonge nga batuuze ku kyalo Setaala.

Abalala kuliko Batesta Mutabaazi, Joseph Kayabula, Ashraf Kayinza, Issa Ssebunnya, Moses Kaganda ne Kaboyo Henry nga bonna batuuze ku kyalo Byanjiri mu disitulikiti y’e Lwengo.

Wabula Bannamateeka baabwe nga bakulembeddwamu omuloodi wa Kampala Salongo Erias Lukwago agamba nti balina okweyambisa enkola ya mateeka, okutaasa abantu baabwe e Kkomera.

Lukwago agamba nti mu kiseera kino abalamuzi bali mu kutya olwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okuwakanya eky’okuyimbula abantu abakwattiddwa ku misango gya naggomola.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/569442994163834