Omuyimbi Rema Namakula, ayongedde okulaga bba Dr. Hamzah Ssebunya nti ddala mukyala wanjawulo nnyo ku bakyala abalala.

Sabiiti ewedde, Rema yazaalidde Dr. Hamzah omwana omuwala era yamuwadde erinnya lya Aaliyah Sebunya.

Wakati mu laavu n’okwaniriza omwana, Rema asobodde okufulumya oluyimba lw’omukwano ‘Akafee Che” mu ngeri y’okutegeeza bba nti alina okukuuma ekyama wakati waabwe.

Mu luyimba ‘Akafee Che’, Rema agamba nti “omanyi buli kimu kyabala mu nze, Lino taka jimu kwosiga, Nabala amatooke, Ndiko namayuuni, Ndi musili gwa ffene n’embogga“.

Rema ne bba mu laavu

Mungeri y’emu agamba nti, “Nze maama yansimba n’omuddo nakoola, Kati buli kimu kyabala, Yansunsula mu matabbi n’obukoola, Ebijimusa nabyo byanoga, Yafukirira bulungi ng’ekyeya kisusse“.

Rema mu ngeri y’okulaga nti ddala mukyala wanjawulo, mu luyimba alaga nti, “Yankuza natuk’okusulisa nga buli kyesako kiri mu mirimba“.

Ng’omukyala omulala yenna ategeera omukwano, mu luyimba, Rema asobodde okutegeeza bba Dr. Hamzah, “Nina bingi byotanalaba era bingi ebyekwesse Mund’eyo, Nze ekka bantendeka najjula akaffe Che“.

Ebigambo bya Rema n’omukwano gw’alina eri bba Dr. Hamzah, kabonero akalaga nti talina kwejjusa kwona kusuulawo eyali bba omuyimbi Eddy Kenzo wadde yali amuzaalidde omwana omu ku lwa Hamzah.

Audio y’oluyimba.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=m-E_deaMVac