Pulezidenti Museveni alayidde!
Kyaddaki Gavumenti ezudde amannya g’abatujju abaakoze obulumbaganyi olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri.
Okusinzira ku Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, omutujju eyakwattiddwa e Katooke mu bitundu bye Bwaise, yafudde oluvanyuma lw’okuwa ebitongole by’okwerinda amawulire.
Poliisi egamba nti omutujju yakubiddwa essasi okumunafuya kyokka oluvanyuma lw’okuwa ebitongole by’okwerinda amawulire yafudde.
Pulezidenti Museveni agamba nti eyafudde ye Musa Mudasiri.
Abatujju abalala abaafudde kuliko Mansoor Uthman eyafiiridde okumpi n’ekitebe kya Poliisi mu Kampala ekya CPS ate Wanjusi Abdallah y’omu ku bafiiridde ku Parliamentary Avenue okumpi ne offiisi za kalisoliiso wa gavumenti Betty Namisango Kamya.
Pulezidenti Museveni era agamba nti abaakoze obulumbaganyi batujju bakabinja ka ADF, abaalumba Gen. Katumba Wamala mu Gwomukaaga, 2021.
Agamba nti oluvanyuma lw’okulumba Gen Katumba, abatujju musanvu (7) battiddwa nga bagezaako okulemesa ebitongole ebikuuma ddembe okubakwata, 81 bakwattiddwa, 3 battiddwa bbomu.
Pulezidenti agamba nti abatujju abesse olunnaku olw’eggulo, babadde banoonyezebwa ebitongole ebikuuma ddembe oluvanyuma lw’okwenyigira mu kulumba Gen. Katumba.
Abattiddwa oluvanyuma lw’okulumba Gen. Katumba kuliko Nsubuga Mohammed, Manihaji, Moses Mudasiri (eyesse olunnaku olw’eggulo), Master Lubwama, Juma Saidi, Serwadda Juma ne Amin Kawawa Mustapha.
Pulezidenti Museveni era agamba nti kino kye kiseera, abantu okwongera okwekuuma n’okwekebejja buli muntu ayingira mu Hoteero, amasinzizo, obutale, Akeedi n’ebifo ebirala.
Agumizza eggwanga ku nsonga y’ebyokwerinda era agamba nti tewali muntu yenna ayinza kuwangula Gavumenti ku nsonga y’ebyokwerinda.
Pulezidenti Museveni era agamba nti mu kiseera kino bakolera wamu n’amawanga amalala agatuliraanye, okulwanyisa abatujju abali mu Uganda n’ebweru w’eggwanga.
Agamba nti abatujju okulumba ekibuga, berabisiza nnyo era bonna balina okusanawo kuba Gavumenti yateekawo enkola z’okulwanyisa obutujju mu bibuga mu 2007.
Mukulu Museveni agamba nti Nsubuga eyeeyita ‘Sheikh’ ali mu kubuzabuza abavubuka mu bitundu bye Lweza, y’omu ku mbizzi ezinoonyezebwa.
Agamba nti bwe kiba ng’omuntu yenna okwetta, kimutwala mu ‘Jaanaa’, Nsubuga alina okusooka okwetta, okusinga okubuzabuza abaana abato.
Alangiridde nti kati ye ssaawa okulwanyisa abatujju kuba eky’okulumba mu Kampala n’okutta bannansi, abatujju bonna balina okunoonyezebwa mu bwangu ddala.
Mu bulumbaganyi olunnaku olw’eggulo, abantu mukaaga (6) baafudde omuli abatujju basatu (3) n’abantu babuligyo basatu (3) era abatujju bakabinja ka Isis, bagamba nti beebakoze obulumbaganyi. Abantu 33, bali mu ddwaaliro ekkulu e Mulago, okufuna obujanjabi.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=dumSm0ULt1A