Kyaddaki Palamenti eyisizza ebbago ly’enoongosereza ku kittavvu ky’abakozi ekya National Social Security Fund (NSSF) ku nzirukanya y’ensimbi ssaako n’abakozi engeri gye balina okufuna ensimbi zaabwe.
Mu bbago eriyisiddwa erya NSSF Amendment Act, 2021, buli mukozi waddembe okuggyayo ku ssente ze ebitundu 20 ku 100 singa atereka emyaka egisukka 10 ate ng’ali waggulu wa myaka 45.
Mu Palamenti ebadde ekubirizibwa sipiika Jacob Oulanyah, mu bbago bakaanyiza Minisitule y’ekikula ky’abantu, okuba kalabalaba w’ekittavvu ky’abakozi ate Minisitule y’ebyensimbi, okwasaganya eby’ensimbi n’okuzisiga.
Mungeri y’emu, Palamenti bakaanyiza nti buli mukozesa alina okusasulira abakozi ssente mu kittavvu ky’abakozi.
Ate abaliko obulemu nga basussa emyaka 40 nga baterese emyaka egisukka 10, bakkiriziddwa okufuna ku ssente zaabwe ebitundu 50 ku 100.
Wadde Palamenti y’e 10, yali yakola enoongosereza, ebbago ne liyisibwa, lyakomezebwawo mu Palamenti y’e 11, olw’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okugaana okulisaako omukono nga mulimu ebikyalumira.
Oluvanyuma lw’okuyisibwa, sipiika Oulanyah ayozayozezza Palamenti omulimu gwekoze n’okusiima abakozi, okuba abaguminkiriza ku bikwata ku ssente zaabwe.
Omukozesa anaalemwa okusasula ensimbi z’omukozi eza NSSF waakusibwanga emyaka etaano, ate awe n’engassi ya bitundu 20 ku buli 100 ogw’omugatte gw’ensimbi zaabadde tasasula.
Oulanyah agamba nti kati ye ssaawa, okufuna wasizza olwa Palamenti, okufundikira omulimu gwaayo ku kittavvu ky’abakozi.
Ate Minisita w’ettaka Betty Amongi, agamba nti kati ye ssaawa, abakozi okweyambisa ensimbi zaabwe mu kwekulakulanya.
Minisita Amongi, agamba nti mu kiseera kino nga Bbanka zongedde okuwanika amagoba ku ssente ezewolebwa, ssente zaabwe mu kittavvu ky’abakozi, zigenda kubayamba nnyo.
Ate ssentebe w’ekibiina ekigatta abakozi mu ggwanga ekya National Organization of Trade Union (NOTU), Usher Wilson Owere, agamba nti Palamenti okuyisa ebbago, buwanguzi obutukiddwako eri abakozi okulya ku ssente zaabwe.
Owere ng’asangiddwa ku Palamenti wakati mu ssanyu oluvanyuma lw’okuyisa ebbago, agamba nti kati ye ssaawa, Pulezidenti Museveni okulisaako omukono.
Oluvanyuma lw’ebbago okuyisibwa, Pulezidenti Museveni asigazza ennaku 30 okulisaako omukono, okufuuka etteeka, abakozi okulya ku zaabwe.
Abakozi okuvaayo okubanja ku ssente zaabwe, kyavudde ku mbeera embi wakati mu kulwanyisa Covid-19 nga bangi tebalina kyakulya wadde balina ssente zaabwe mu NSSF.
Ekittavvu ky’abakozi kikuze okuva ku buwumbi 800 okutuukira ddala ku tiriyooni eziri mu 17 nga kitereka ssente z’abakozi abasoba mu bukadde 2 ekikireetede okufuuka eky’amaanyi ennyo mu Afrika.
More about NSSF – https://www.youtube.com/watch?v=tOCOi1sv-0s&t=41s