Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo asambaze ebyogerwa nti abalamuzi bakolera mu kutya olwa ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement – NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okuwakanya eky’okuyimbula abantu abakwattiddwa ku misango gya naggomola.

Museveni agamba nti eky’okuyimbula abantu abakwattiddwa ku misango gya naggomola, ekyongedde okuviirako abantu okutwalira amateeka mu ngalo ssaako n’abamu ku bakwattiddwa ne bayimbulwa, okuddamu okwenyigira mu kumenya amateeka.

Wabula omuloodi wa Kampala, munnamateeka Ssalongo Erias Lukwago agamba nti abalamuzi, bakolera mu kutya olw’okutya okunyiiza omukulembeze w’eggwanga Museveni singa bayimbula omuntu yenna ali ku misango gya naggomola.

Lukwago, agamba nti embeera eyo, y’emu ku nsonga lwaki abalamuzi batya okuyimbula Muhammad Ssegirinya, omubaka we Kawempe North ssaako ne Allan Ssewanyana owe Makindye West abali ku limanda ku misango omuli obutemu, obutujju n’okuwagira ebikolwa eby’ekitujju n’okugezaako okutta abantu, mu kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, 2021, ekyaleka abasukka 20 nga battiddwa.

Eddoboozi lya Lukwago

Ku nsonga ezo, ne Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) agamba nti Ssegirinya ne Ssewanyana okusigala mu kkomera, kabonero akalaga nti abalamuzi bazinira ku ntoli za Pulezidenti Museveni.

Alfonse Owiny-Dollo

Wabula Ssaabalamuzi Owiny-Dollo agamba nti Yoweri Kaguta Museveni, ng’omukulembeze w’eggwanga, waddembe okuwa endowooza ye, ku nsonga y’okuwakanya abantu okweyimirirwa.

Owiny-Dollo bw’abadde ayogerako ne 100.2 Galaxy FM mu Monicipaali y’e Kitgum, agambye nti Museveni, munnayuganda, mukulembeze ate ng’omuntu omukulu, waddembe okutwala endowooza ye mu Palamenti y’eggwanga.

Agamba singa Palamenti ekkiriza ne bakola enoongosereza mu Ssemateeka w’eggwanga, ne bagyawo eky’okuyimbula abakwate ku misango egya naggomola, tewali kubusabuusa kwonna, ekitongole ekiramuzi, balina okukiteeka mu nkola.

Eddoboozi lya Dollo

Owiny-Dollo era agamba nti wadde Museveni ye mukulembeze w’eggwanga, tasobola kulagira bulagizi ne kikolebwa bwe kituuka ku nsonga y’amateeka.

Ate Poliisi y’e Kiira etandiise okunoonya abazannyi abawala aba ttimu y’eggwanga erya Eritrea abali wansi w’emyaka 20 abadduse mu nkambi.

Abawala bano, abali wakati w’emyaka 16 – 19, badduse nga busasaana enkya ya leero, okuva ku Sunset Hotel International mu kibuga kye Jinja.

Mu Uganda, baggya mu mpaka z’okusamba omupiira gw’ebigere, ezatandika nga 30, omwezi oguwedde ogwa October, nga zakutambula okutuusa nga 9, omwezi guno ogwa November.

Wabula James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira, agambye nti Poliisi yegatiddwako ekibiina, ekifuga omupiira gw’ebigera mu Uganda ekya ‘FUFA’ ssaako n’abakungu, abakulembeddemu okuleeta ttiimu ya Eritrea, okunoonya abadduse mu nkambi.

Abanoonyezebwa kuliko Yisehaq Liwam Solomon 16, Mohammed Yordanos Abraham 17, Raka Shamat Futsum 18, Kahsay Rahel Michael 18 ne Knfu Trhas Habate 19.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/193970322886971