Bannabyanjigiriza mu ggwanga erya Tanzania baanirizza entekateeka ya Gavumenti, ey’abawala abali embutto okubakkiriza okudda ku masomero.

Okusinzira ku Minisita w’ebyenjigiriza mu ggwanga erya Tanzania, Prof Joyce Ndalichako, abayizi bonna abaawanduka masomero nga bali mu ‘Primary’ ne ‘Secondary’ olw’ensonga ezitali zimu omuli okufuna embutto, omukisa guzze okudda ku masomero.

Gavumenti eri mu ntekateeka okuteekawo ensoma ey’enjawulo eri abayizi bonna abali embutto nga kikoleddwa, okutangira abayizi abato abali embutto okwenyigira mu bintu ebiyinza okumenya amateeka.

Prof Joyce Ndalichako

Alipoota mu Tanzania ziraga nti buli mwaka abaana abasukka emitwalo 12 bawanduka mu masomero, nga abali mu 700 kivudde ku baana kufuna mbutto.

Wabula, abazadde baludde nga bemulugunya ku ky’okulemesa abaana abawala okuddayo okusoma ate ng’abo abalenzi, bakkirizibwa okutambuza emisomo gyabwe.

Kati no, Bannabyanjigiriza basanyukidde enteekateeka ya Gavumenti eky’abaana abawala abali embutto okudda ku masomero, nga kigenda kuyamba nnyo abayivu okweyongera mu ggwanga.

Kinnajjukirwa nti eyali omukulembeze w’eggwanga eryo, kati omugenzi John Pompe Magufuli, yagaana eky’abaana abali embutto okudda ku masomero n’okulangira nti omusajja yenna akwattiddwa ku by’okutikka omwana omuto olubuto, wakusibwa emyaka egisukka 30.

Etteeka eritangira abaana abali embutto okudda ku masomero, libaddewo mu Tanzania emyaka 19, nga Magufuli yali ayongedde kuliteeka mu nkola.

Tanzania mu kiseera kino ekulemberwa omukyala Samia Suluhu Hassan oluvanyuma lwa Magufuli okufa mu March, 2021.

Ate minisitule y’ebyobulimi mu ggwanga erya Malawi ewandiikidde eyali omukubi w’ekibonde Mike Tyson okuba Ambasadda w’eggwanga ku byenjaga.

Okusinzira ku Minisita w’ebyobulimi Lobin Lowe, Malawi yakkiriza bannansi okulima n’okutunda enjaga omwaka oguwedde ogwa 2020 era kivuddeko abantu bangi nnyo, okweyongera okugirima n’okuwa abantu emirimu mu ggwanga munda n’ensi z’ebweru.

Mike Tyson

Malawi egamba nti ekitongole kya America ekikola ku by’enjaga, kyasuubiza okuwangira entekateeka zonna, okusembeza Tyson ku by’okutambuza emirimu gy’enjaga.

Tyson myaka 55 nga munnansi wa America, y’omu ku basuubuzi abegumbulidde okutunda n’okulima enjaga era mbu y’emu ku nsonga lwaki Malawi eremeddeko okumukwasa obwa Ambasadda bw’enjaga.

Tyson eyali amanyikiddwa nga Iron Mike eyali musajja wamaanyi ddala, era yawangula emisipi egy’enjawulo wakati 1985 okutuusa 2005.

Yazaalibwa nga 30, Ogwomukaaga, 1966 era musajja muzito, ng’ali mu kiro 100.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=qyXkcdAElq8