Omusajja ali mu gy’obukulu 60 aswadde oluvanyuma lw’omwana omuwala ali mu myaka 19, okumuteeka mu vidiyo nga tamanyi.
Omuwala yabadde ne banne nga bali kulya bulamu era ng’omuwala omulala yenna ku myaka gye, yabadde ayambadde mu ngeri y’okulaga omubiri.

Omuwala n’omusajja


Wadde omusajja yabadde amukwatirira ssaako n’okwagala okulaba ku mpale ye, omuwala yamutadde mu kamera y’essimu nga tamanyi.
Omuwala yabadde ku Tik Tok kyokka bwe yabadde agezaako okulaga ensi, ‘Sugar Daddy’ we, omusajja yabuuse okuva mu kkamera omulungi gumu olw’okutya abantu okumulaba nti ali n’omwana omuto.

Nga bamuteeka mu kkamera

Wadde omusajja mukulu nnyo, omuwala alaga nti ye musanyufu nnyo kuba naye afunye omusajja ayinza okumuteekamu ku ssente.

Wadde vidiyo eyongedde okutambula ku mikutu migatta bantu, tekimanyiddwa omusajja n’omuwala baabadde mu nsi ki?

Vidiyo