Kyaddaki kkooti ya Buganda Road ekirizza omubaka we Kawempe North, Muhammad Ssegirinya okweyimirirwa ku misango gy’okukuma omuliro mu bantu.
Kigambibwa, Ssegirinya wakati w’omwezi Ogwomunaana n’Ogwomwenda, 2020 mu Kampala, yasobola okweyambisa omukutu ogwa Face Book mu mannya ga ‘Ssegirinya Muhammad FANS PAGE’, okukuunga abantu okwenyigira mu kwekalakaasa n’okukola effujjo ku kabinja k’abantu ku nsonga za Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine.
Mungeri y’emu Ssegirinya mbu yategeeza nti singa bagezaako okutta Robert Kyagulanyi Ssentamu mu ngeri yonna, ekinabaawo, kigenda kubisaamu emirundi 40 kwebyo ebyaali mu ggwanga erya Rwanda mu kitta bantu kya 1994.
Enkya ya leero, mu kkooti, Ssegirinya ng’asinzira ku Murchison bay e Luzira ku nkola eya ‘Zoom’, abadde akiikiriddwa munnamateeka we era omubaka omukyala owa Kampala Malende Shamim era asobodde okuleeta abantu babiri (2) okweyimirirwa okuli Kansala wa LC 3 e Luteete, Wampewo mu disitulikiti y’e Wakiso ne Kansala Bagoza Thomas okuva e Wandegeya.
Wabula oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Peter Mugisha lubadde lusimbidde ekkuli, Ssegirinya okuyimbulwa, nti ayinza okweyambisa obuyinza bwe ng’omubaka wa Palamenti okutaataganya okunoonyereza, ebyokwerinda, okweyongera okukuma omuliro mu bantu ate nga akyali ku misango egyanaggombola ku kitta bantu ekyali e Masaka, wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, 2021.
Wadde Mugisha asobodde okulambika ensonga ezo, Omulamuzi Doreen Kalungi byonna abiwakanyiza era bwatyo, akirizza Ssegirinya okweyimirirwa ku miriyoni emu ey’obuliwo n’obukadde 10 buli omu ku bantu baleese, ezitali za buliwo, ekiwadde aba famire ya Ssegirinya ne mikwano gye akamwenyumwenyu.
Ssegirinya alagiddwa okudda mu kkooti nga 22, omwezi guno ogwa Desemba.
Oluvudde mu kkooti, munnamateeka we Malende agamba nti Ssegirinya okuba nti mulwadde zezimu ku nsonga omulamuzi kwasinzidde okumuyimbula.
Ate bakyala ba Ssegirinya okuli Twahira Akandinda ne Nanfuka Fatuma owe Kasangati, ekya kkooti okulagira Ssegirinya okweyimirirwa, kikomezaawo essanyu ku mitima gyabwe.
Bano bagamba nti bamwesunze okumulaga nti watabadde, ng’obulamu tebutambula nga n’eby’okulya, emmere tekyawooma.
Ate Justine Nakajumba, maama wa Ssegirinya, wakati mu kulukusa amaziga, asiimye eky’omulamuzi Doreen Kalungi, okulagira mutabani we okuyimbulwa, okusobola okufuna obujanjabi.
Wadde kkooti ya Buganda Road ekkiriza okusaba kwa Ssegirinya okuyimbulwa, sabiiti ewedde ku Lwokubiri nga 23, omwezi oguwedde ogwa November, 2021, kkooti esookerwako e Masaka yasindise Ssegirinya mu kkooti enkulu, okwewozaako ku misango egimuvunaanibwa ku kitta ky’abantu kye Masaka, omwafiira abasukka 20.
Ssegirinya ali ku misango gye gimu n’omubaka Allan Ssewanyana owe Makindye West ssaako n’abantu abalala.
Mu kkooti, bali ku misango omuli egy’obutemu, obutujju, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju n’okugezaako okutta abantu.
Bukya bakwattibwa, bakulungudde ebbanga erisukka emyezi 3, nga bali ku limanda mu kkomera e Kigo.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=sPRwAIJYR5w