Kyaddaki Palamenti efunye alipoota ku bulamu bwa Muhammad Ssegirinya amanyikiddwa nga Mr.Update ssaako n’okutegeera obulwadde, obwamutuusiza okumutwaza mu ddwaaliro ekkulu e Mulago.

Mr.Update, yalondebwa ng’omubaka we Kawempe North wabula yasindikibwa ku limanda mu kkomera e Kigo ku misango omuli egy’obutemu, obutujju ssaako n’emisango emirala olw’ekitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, 2021 ekyaleka abasukka 20 nga battiddwa.

Wabula e Kigo yagibwayo, natwalibwa mu kkomera ly’abasibe e Luzira erya Murchison Bay, gye yagiddwa ng’embeera eyongedde okubiggya, okutwalibwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago.

Wabula mu Palamenti akawungeezi ka leero, amyuka sipiika Anita Among, agambye nti offiisi ye, yafunye alipoota ku bulamu bwa Ssegirinya era okwebuuza ku bantu ab’enjawulo omuli ne offiisi y’oludda oluvuganya Mathias Mpuuga kutandikiddewo.

Mungeri y’emu agambye nti wadde alipoota yatuuse mu offiisi ye, tebasobola kujanjulira Palamenti yonna, nga kityoboola eddembe ly’omulwadde.

Eddoboozi lya Ssegirinya

Mu Palamenti, ne Minisita w’ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng naye agambye nti ng’omusawo omutendeke, tasobola kutegeeza Palamenti ebikwata ku ndwadde za Ssegirinya.

Mr.Update yakwatibwa n’abantu abenjawulo omuli n’omubaka we Makindye West Allan Ssewanyana, nga ye akyali ku limanda mu kkomera e Kigo.

Wabula munna Forum for Democratic Change-FDC era omubaka wa Monicipaali y’e Kira Ibrahim Ssemujju Nganda, asabye Palamenti okuyamba ne Ssewanyana nga naye mu kkomera mulwadde.

Sipiika mukwanukula, agambye nti n’ensonga ya Ssewanyana bagirondoola.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine yakyaliddeko Ssegirinya mu ddwaaliro e Mulago.

Ssegirinya wadde ali mu ddwaaliro, yetooloddwa abasirikale b’ekitongole eky’amakkomera kuba akyali musibe.

Wabula Kyagulanyi, mu ddwaaliro yawerekeddwako Ssaabawandiisi w’ekibiina ki NUP David Lewis Rubongoya, omwogezi w’ekibiina ki NUP era omubaka we Nakawa West Joel Besekezi Ssenyonyi, era yagambye nti Ssegirinya mulwadde muyi nga yetaaga okuyambibwa.

Kyagulanyi agamba nti ekigere kya Ssegirinya kyongedde okuvunda, ayongedde okunafuwa nga yetaaga obujanjabi obusinga ku buli e Mulago.

Ate Mpuuga agamba nti Gavumenti erina okuwa Ssegirinya obujanjabi okusobola okumutwala mu kkooti nga mulamu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=MnXGUpPzDjg