Akulira oludda oluvuganya mu Palamenti y’eggwanga Mathius Mpuuga, awanjagidde Palamenti y’eggwanga okuyingira mu bwangu mu nsonga z’omubaka we Kawempe North Muhammad Sseggirinnya, kuba embeera eyongedde okubiggya.

Mpuuga agamba nti ebiriwo okuva mu ddwaaliro ekkulu e Mulago, Ssegirinya gye yaddusiddwa, embeera si nungi nga singa Palamenti temwanguyira okufuna obujanjabi, bayinza okumutwala mu kkooti nga z’embuyaga ezikunta.

Omubaka Mpuuga

Mu Palamenti ebadde akubirizibwa, amyuka sipiika Anita Among , Mpuuga agamba nti Gavumenti eringa eremeddeko Ssegirinya okufa nga bekwasa obusongasonga.

Eddoboozi lya Mpuuga
Sipiika Among

Wabula sipiika Anita Among mu kwanukula agambye nti, Palamenti terina buyinza okuggya Ssegirinya mu ddwaaliro e Mulago oba yonna gyali okumutwala mu ddwaaliro eddala, okutuusa nga gavumenti ebiyingiddemu, okubakkiriza okumutwala.

Eddoboozi lya Among
Ssaabaminisita Nabbanja

Amangu ddala Ssaabaminisita Robinah Nabbanja, avuddeyo okwanukula ku nsonga ezo, era agambye nti abakulembeze balina okukwatagana mu kiseera kino omuli ye, Mpuuga ssaako n’amyuka sipiika Anite Among, wamu n’omusawo wa Ssegirinya, okumukyalirako, okwekeneenya embeera gy’alimu n’okusalawo ekiyinza okuddako.

Eddoboozi lya Nabbanja