Eyaliko Pulezidenti w’ekibiina ki Forum for Democratic Change – FDC, munnamaggye eyaganyuka Col. Dr. Kizza Besigye, akangudde ku ddoboozi olwa Gavumenti okusindika amaggye mu ggwanga erya Democratic Republic of the Congo (Congo) mu ngeri emenya amateeka.

Uganda, yasindika amaggye ga UPDF mu ggwanga erya Congo nga tumalako omwezi oguwedde ogwa November, okuyambako mu kulwanyisa abatujju bakabinja ka Allied Democratic Forces (ADF) ssaako n’okusanyawo enkambi zaabwe.

Kigambibwa, waliwo abatujju abattiddwa era ssaawa yonna, amaggye gakutegeeza eggwanga, obuwanguzi obutuukiddwako.

Besigye Katonga

Wabula Dr. Besigye wadde yawumula amaggye, agamba nti engeri amaggye gyegasindikiddwa mu ggwanga erya Congo, Gavumenti yaziimudde amateeka.

Besigye ng’asinzira ku Katonga Road, nga ssentebe w’ekisinde ki People’s Front for Transition, alabudde Gavumenti okunoonyereza ekivaako abantu okwenyigira mu butujju okusinga okuteeka amaanyi ku batujju nga tegyewo nsonga ezibatwalayo.

Besigye ADF

Mungeri y’emu agamba nti embeera embi ng’omuntu yenna aweddemu essuubi, y’emu ku nsonga lwaki n’okwetta kweyongedde.

Besigye alemeddeko ku nsonga y’amaggye

Besigye agamba nti mu Uganda, abantu abali ku kisenge beyongedde obungi, ekyongedde okuteeka eggwanga mu kaseera akazibu.

Ku nsonga y’okweyambisa amaanyi agasukkiridde mu kulwanyisa abatujju ba ADF mu ggwanga erya Congo, Besigye agamba nti Gavumenti okutwala amaggye ssaako n’ebyokulwanyisa eby’amaanyi, kabonero akalaga nti abatujju ba ADF bakyali bamaanyi oba Gavumenti eriko byesirikidde nga yeerimbise mu kulwanyisa abatujju.

Besigye maanyi

Besigye, abadde awerekeddwako abantu abenjawulo omuli omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, Pulezidenti w’ekibiina ki Conservative Party (CP), John Ken Lukyamuzi, amyuka omuwandiisi wa FDC Harold Kaija, ssaako n’abakulembeze abalala.

Besigye, mungeri y’emu yewunyiza Uganda gy’esima zzaabu, gw’etunda mu nsi z’ebweru, okuyingiza ensimbi, ebitundu ebisukka 50 ku 100.

Ate omuloodi Lukwago awanjagidde Palamenti okuvaayo okuteeka ku nninga Gavumenti okunyonyola ku ky’okutwala amaggye e Congo.
Lukwago agamba nti n’amaggye agali mu Palamenti, eno ye ssaawa okuvaayo okulaga nti galina omugaso okubanja Gavumenti okuvaayo okunyonyola lwaki basukkiridde okumenya amateeka.
Mu kiseera kino agamba amaggye okusigala e Congo, galiyo mu bumenyi bw’amateeka.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Bzd-Wvqdbto