Ssaabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja alagidde bakwate omusawo ku ddwaliro elya Kangulumiira Health Center 4 abadde asuuse okutulugunya abalwadde nga abajjako ensimbi eziri wakati w’emitwalo asatu (30,000) wakati mu kubatusako obujjanjabi.
Ono alagidde omuddumizi wa Poliisi e Kayunga amunoonye buli wamu amukwate oluvanyuma lw’abantu okwekubira enduulu gyaali.
Ssaabaminisita Nabbanja asiibye Kayunga mukunoonya akalulu kakwatidde ekibiina Kya NRM bbendera Andrew Muwonge.
Bwe yabadde ayogerako eri abatuuze, yagambye nti omusawo okusaba abalwadde ssente, kivumaganya Gavumenti, ekintu ekimenya amateeka.
Agamba nti kiswaza omusawo okusaba ssente abalwadde ate nga Gavumenti ekoze omulimu gwaayo.
Ate ekibiina ki Democratic Party (DP) kironze Gerald Siranda okukwatira Dp bendera okuvuganya ku ky’omubaka anaakirira Uganda mu lukiiko olutaba amawanga ga East Africa.
Siranda abadde avuganya n’eyaliko omubaka omukyala wa disitulikiti ey’e Masaka Owek. Babirye Kabanda.
Oluvanyuma lw’okulonda, Babirye Kabanda akiikidde abakukulu mu kibiina kye ekya DP ensingo n’okusingira ddala abava mu Buganda.
Kabanda agamba nti abakulembeze mu Buganda okulonda Kabanda, y’emu ku nsonga lwaki yawanguddwa.
Mu kulonda Siranda yawangudde Kabanda ku bululu bubiri (2) bwokka nga yafunye obululu 24 ate Kabanda 22.
Ate Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga akubirizza abazadde okukuumira abaana mu kumanya ennono zaabwe n’ebifa mu bika byabwe.
Mayiga okwogera ebyo, abadde yetabye mu kwabya olumbe lwa Deogratius Joseph Kasanvu ku kyalo Kasiggu e Mende mu Ssaza lye Busiro.
Owek. Mayiga agamba nti singa abaana bajumbizibwa mu nteekateeka z’ebika byabwe kibayambe okukula ng’abamanyi n’obuterabira bikka byabwe olw’obuyigirize bwebaba bafunye naakubiriza abantu okukola emirimu gy’ebika byabwe.
Ate wakati mu kulwanyisa Covid-19, abaana abasukka mu 47,000 bafunye embutto mu bitundu bye Bukedi mu bbanga lya myezi 2.
Alipoota mu disitulikiti eraga nti omuwendo gw’abaana abali embutto gweyongedde okuva ku 23,829 mu 2019 okudda ku 25,066 mu 2020 ate 22,944 okuva mu January – October, 2021.
Alipoota era eraga nti Tororo, Busia ne Paliisa ze disitulikiti ezisinze okufuna abaana abali e mbutto.
Tororo erina abaana 11480, Busia 7558 ate Pallisa 7173.
Butaleja erina abaana 6,955, Budaka 6515, Kibuku 5498 ate Butebo 2831 mu bbanga lya myaka 2.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=_ilflW2nBzU