Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II anokoddeyo ensonga satu (3), abantu be, zebalina okuteeka mu nkola ate mu bwangu ddala.
Maggulunnyondo Mutebi bw’abadde aggalawo olukiiko olwa Buganda olwa 28 n’okuggulawo olukiiko olupya olwa 29 ku Bulange e Mmengo enkya ya leero, asabye abantu be, okulwanyisa obulimba, obuyinza okuggya abantu ku mulamwa ku nsonga enkulu ezikwata ku bwa Kabaka.

Mungeri y’emu Bbeene alagidde abantu be, okwenyigiramu mu kulwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga obwa buli ngeri kuba buzingamiza obuweereza obwenjawulo okutuuka ku bantu be n’okusoosowaza ennyo ensonga y’ebyobulamu nga bakola buli ekyetaagisa okulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya.

Omutanda agamba nti enguzi si kubulankanya nsimbi naye awadde eky’okulabirako ku ngeri ettaka lye ntobazi n’ebibira gyebitwaliddwa awamu n’engeri emirimu gyegibabibwa nga abalina ebisaanyizo ebitawera bawebwa enkizo nebaleka ababiweza.

Maasomoogi, bw’atuuse e Mengo, alamusiza ku Mujjaguzo era abadde awerekeddwako Maama Nnabagereka Sylivia Nagginda ng’ayaniriziddwa Katikkiro wa Buganda, munnamateeka harles Peter Mayiga.
Omukolo gutambuziddwa mu ngeri ya ‘Science’ olw’okutangira okutambuza Covid-19, era Katikkiro Mayiga, awanjagidde abantu ba Ssaabasajja, okwagala Kabaka waabwe mu mbeera yonna awatali kutabiikiriza byabufuzi, amawanga n’eddiini.

Omukolo gwa leero, abantu bonna abaweebwa obwami, beyanzizza mu maaso g’Empologoma era gwetabiddwako abakungu, batono ddala.
Olukiiko lwa 29, lwakutuula omulundi ogusooka nga 17, Janwali, 2022.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=GPN-7RTCPTk