Omulamuzi wa kkooti e Masaka Christine Nantege alagidde gavumenti okwanguyiriza okunoonyereza ku misango egivunaanibwa abakiise ba Palamenti bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) okuli omubaka we Kawempe ey’omambuka Muhammad Ssegirinya ne Makindye West Allan Sewanyana.

Enkya ya leero, Ssegirinya ne Ssewanyana, basimbiddwa mu kkooti nga beyambisa enkola ya ‘Zoom’ era bategeezeddwa nti bakyanoonyereza ku misango gyabwe.

Omulamuzi Nantege alagidde baddeyo ku Limanda mu kkomera e Kigo, okutuusa nga 19, omwezi guno ogwa Janwali, 2022 kwe kulagira oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Richard Birivumbuka, okwanguya okunoonyereza.

Ssegirinya ne Ssewanyana bali ku misango gy’okwenyigira mu kutta abantu, mu kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, 2021 omwafiira abantu abasoba 20, era nga bali ku limanda ku misango egy’enjawulo omuli n’okuwagira ebikolwa eby’ekitujju nga bavunaanibwa n’abantu abalala 17.

Ate ekitongole kya Poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango mu ggwanga ekya Criminal Investigations Directorate (CID)  kyekokkodde ekitongole ekiramuzi, okuvaako emisango okutambula akasoobo, ekivuddeko bangi ku bannayuganda, okugwaamu essuubi eri ekitongole kyabwe.

Okusinzira ku mwogezi w’ekitongole ekyo Charles Twine, Poliisi ekola bulungi emirimu gyaayo, okunoonyereza, emisango ne gisindikibwa mu kkooti, kyokka bwegituuka mu kkooti, emisango gitwala emyaka egiwera nga tegiwuliddwa.

Twine anokoddeyo omusango gwa Susan Magara, eyawambibwa nattibwa, omulambo ne gusuulibwa e Kigo ku Entebbe Expressway nga 28, Ogwokubiri, 2018 n’omusango gwa Maria Nagirinya, eyawambibwa nattibwa, omulambo gwe ne gusuulibwa mu disitulikiti y’e Mukono nga 28, Ogwomunaana, 2019.

Agamba, emisango gyonna, Poliisi yakola omulimu gwaayo ne banoonyereza, wabula mu kkooti, emisango teginnaba kuwulirwa.

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2022/01/Twine-Cases.mp3
Twine ku misango

Ku nsonga ezo, 100.2 Galaxy FM ewayizaamuko n’amyuka omwogezi w’ekitongole ekiwaabi ekya Gavumenti Irene Nakimbugwe, era agamba nti kituufu, Poliisi ekola bulungi omulimu gwaayo ne bakola okunoonyereza wabula emisango gisukkiridde okutambula akasoobo nga batuuse mu kkooti.

Nakimbugwe agamba nti kkooti, esukkiridde okwongezaayo emisango, ekivuddeko bangi ku bantu okuwangalira mu makkomera nga bali ku limanda ku misango egitali gimu.

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2022/01/Nakimbugwe-One-Final.mp3
Eddoboozi lya Nakimbugwe

Ate ekitongole ekiramuzi, kigamba nti waliwo ensonga ez’enjawulo, eziremesa emisango okutambula mu bwangu.

Omwogezi w’essiga eddamuzi James Karemani, agamba nti abalamuzi okuba abatono nga ne ssente tezimala, y’emu ku nsonga lwaki emisango gitambula kasoobo.

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2022/01/Karemani-One-Final.mp3
Eddoboozi lya Karemani

Ebirala ebiva mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=yv1c_MEy4eI