Amaggye gatandiise okunoonyereza ku munnamawulire Andrew Mwenda, ku by’okwambala ekyambalo ky’amaggye, neyewaana, nga bw’agenda okuyambako mu kulwanyisa abatujju b’akabinja ka Allied Democratic Forces (ADF) mu ggwanga erya Congo.
Mu katambi akali mu kusasaana ku mikutu migatta bantu omuli Face Book, WhatsApp n’emirala, Mwenda eyabadde anekanekanye mu kyambalo ky’amaggye, yagambye nti ye General, agenda okulwanyisa abatujju.
Mu bigambo bye nga yakamala okulinnya ennyonyi enwanyi, Mwenda era agamba nti mu bbanga ttono, abatujju bakabinja ka ADF, bagenda kulabwako ku nsalo nga bawanise, olw’amaanyi gagenda okubateekako.
Wabula omwogezi w’amaggye Brigadier General Flavia Byekwaso, agamba nti Mwenda ayolekedde okusibwa emyaka 7 singa kinazuulwa nti yayambadde ekyambalo ky’amaggye, nga tewali amuwadde lukusa.
Byekwaso agamba nti okunoonyereza kutandikiddewo kyokka mu Uganda, buli muntu yenna akkirizibwa okwambala ekyambalo ky’amaggye singa afuna olukusa.
Byekwaso anokoddeyo eky’abazannyi ba katemba, abaludde nga bakkirizibwa okwambala ekyambalo ky’amaggye, nga bali mu mizannyo gyabwe.
Omugagga Francis Onebe omutuuze we Munyonyo, kabuze kata akulukuse amaziga, kkooti enkulu mu Kampala bwegaanye okusaba kwe, okweyimirirwa, asobole okufuna obujanjabi n’okulabira ku famire ye.
Onebe ali mu gy’obukulu 65 ali ku misango gy’okutta mukyala we Immaculate Onebe, eyazuulibwa nga wayise emyezi 8, ng’omulambo gwe, gwasuulibwa mu kinnya kya kazambi mu maka gaabwe, mu zzooni y’e Mawanga e Munyonyo mu September, 2021.

Kigambibwa Onebe, yenyigira mu kutta mukyala we ng’ali mu kwebuzabuza era y’emu ku nsonga lwaki yakwattibwa.
Wabula mu kkooti enkulu mu Kampala omulamuzi Paul Gadenya, agobye okusaba kwe nti singa ayimbulwa, ayinza okutaataganya okunoonyereza.
Omulamuzi era agambye nti Obadia Hakiri, omu ku baali bakulembeddwamu okunoonyereza ku misango gya Onebe yasangibwa ng’afudde mu ngeri ekyaliko akabuuza era Onebe aziddwa ku limanda mu kkomera e Luzira.
Ensalawo y’omulamuzi esomeddwa omuwandiisi wa kkooti Didas Muhumuza.
Oluvudde mu kkooti, munnamateeka wa Onebe, Moses Ingura alemeddeko, era agamba nti omuntu we mulwadde yetaaga obujanjabi wadde kkooti egobye okusaba kwe.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=7PUInEBLhsI