Poliisi ekutte omusajja myaka 27 ku misango gy’okusobya ku mukadde myaka 89 mu disitulikiti y’e Oyam.

Kigambibwa Felix Aporo nga mutuuze ku kyalo Apidodok mu ggoombolola y’e Iceme ku lunnaku Olwokuna ku ssaawa 10 ez’ekiro nga 6, Janwali, 2022, yamenye oluggi lwa Merina Ayo namusobyako.

Ayo agamba nti Aporo yasuubiza okumutta singa agezaako okugaana okumusobyako oba okukuba enduulu.

Omukadde Ayo yatwaliddwa mu ddwaaliro okufuna obujanjabi ate  Aporo akwatiddwa ku misango gy’okusobya ku mukadde.

Jimmy Patrick Okema, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye North Kyoga agamba nti essaawa yonna Aporo wakutwalibwa mu kkooti oluvanyuma lw’okunoonyereza.

Mungeri y’emu Poliisi mu disitulikiti y’e Apac eri mu kunoonya omusajja Albino Okwir ku misango gy’okwokya omuliro enju y’omu ku batuuze nga yabadde ya ssubi.

Omuliro gw’asse Brian Amoki myaka 6, mutabani wa Annette Acio.

Bino byabadde ku kyalo Alik ‘A’ mu ggoombolola y’e Chegere.

Kigambibwa obutakaanya wakati wa Okwir n’omukyala Acio, y’emu ku nsonga lwaki enju, yagikumyeko omuliro.

Acio nga yali mukyala wa Okwir era baali balina abaana babiri (2), mu kiseera kino omukyala yafuna omusajja omulala.

Oluvanyuma lw’omuliro, abaana 2 baatwaliddwa mu ddwaaliro lya Apac Nursing Home kyokka Amoki yafudde bakatuuka mu ddwaaliro ate Erick Egungu myaka 15 akyali mu ddwaaliro.

Poliisi egamba nti Albino Okwir aliira ku nsiko mu kiseera kino era yafiro y’omusango eguddwawo ku kitebe kya Poliisi y’e Apac.

Omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, Jimmy Okema asabye abatuuze okweyambisa Poliisi n’abakulembeze ku kyalo okumalawo obutakaanya okusinga okutwalira amateeka mu ngalo.

Omusango guli ku namba CRB 02/2022.