Omulenzi ali mu gy’obukulu 21 awonye emiggo gy’abatuuze, bw’abadde mu kaboozi n’omuwala ali mu gy’obukulu 18.
Olunnaku olw’enkya ku Mmande nga 10, Janwali, 2022, abayizi balina okutandiika okudda ku massomero.
Gavumenti egamba nti wakati mu kulwanyisa Covid-19, amasomero galina okuyambako okulwanyisa obulwadde okusinga okukuumira abaana awaka.
Mu Uganda, waliwo abaana abakulungudde emyaka 2 nga bali waka olwa Covid-19, ekivuddeko abaana abangi abawala okufuna embutto ssaako n’abalenzi okuzaala ku myaka emito.

Wabula ku kyalo Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso, omuvubuka ategerekeseeko erya Katende, asimatuse emiggo gy’abatuuze n’okutwalibwa ku Poliisi, bw’abadde ali mu kaboozi n’omuwala w’essomero.
Kigambibwa omwana ali mu S4 era olunnaku olw’enkya ku Mmande, alina okudda ku ssomero.
Mu kiseera kino ng’abaana bali waka, omuwala abadde mu laavu ne Katende era akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga, omuwala yakyalidde Katende mu kazigo, okumusiibula kuba alina okudda ku ssomero.

Nga wayise eddakika 20, baneyiba bawulidde amaloboozi g’omuntu ng’ali mu kaboozi okuva mu kazigo ka Katende.
Amaloboozi geyongedde ng’omuwala alaga nti anyumirwa, ekyatabudde baneyiba ng’abantu abakulu.
Amangu ddala, baneyiba baatabukidde Katende okwesonyiwa omwana omuto era nebatandika okukuba oluggi.
Katende olw’okutya, yavudde mu nnyumba era amangu ddala yadduse olw’okutya abatuuze okumukuba.

Omuwala ku myaka emito yaswadde era yakubiddwa empi abatuuze kyokka yabadde atwalibwa ku Poliisi, ne bateese okumusonyiwa.
Yasabiddwa okudda awaka, abatuuze ne basuubiza okunoonya Katende okumukangavula kuba asukkiridde okugaanza abaana abato.