Omuwala ali mu gy’obukulu 25 adduse mu loogi bw’abadde asemberedde okusinda omukwano ne ‘Boyfriend’ we ali mu myaka 40.

Ng’omuntu yenna ali mu laavu, omuwala avudde awaka enkya ya leero ku ssaawa 4 ez’okumakya okugenda mu loogi ne Boyfriend okusinda omukwano.

Omuwala agamba nti abadde mu laavu ne ‘Boyfriend’ we Isma okumala ebbanga lya myezi esatu (3) era bambi abadde amwagala nnyo.

Omwezi oguwedde ogwa Desemba, 2021, Isma abadde yatambulamu ng’ali mu ggwanga erya South Sudan, okutambuza emirimu gye.

Omuwala agamba nti Isma yakomyewo akawungeezi k’olunnaku olwa Mmande era yamuleetedde ebintu bingi ddala.

Isma oluvanyuma lw’okudda, yasabye omuwala akaboozi era omuwala yakirizza kuba naye abadde ayagala omusajja.

Omuwala agamba nti Isma musajja mufumbo era ye abadde mukyala wakubiri.

Lwaki adduse!

Omuwala agamba nti awaka alina mutoowe ali mu myaka 18 nga y’emu ku nsonga lwaki abadde tasobola kutwala Isma mu kazigo ke.

Enkya ya leero, akedde kuvaayo, okusisinkana Isma mu Kampala okugenda mu loogi okumugabira ebyalo.

Isma musajja alina ku ssente era alina emmotoka ekika kya Subaru namba UBB 2–.

Omuwala wakati mu kutya, agamba nti bavudde mu Kampala, okudda ku luguudo lwe Ntebe era azzeemu okutegeera ekifo nga bali ku loogi mu bitundu bye Kitooro mu Monicipaali y’e Ntebbe.

Nga batuuse ku Loogi, Isma atumizza eby’okulya era oluvanyuma lw’okulya, amukutte ku mukono okumutwala mu kisenge kya loogi.

Mu loogi, omuwala agamba nti abadde amaliridde okusinda omukwano ne Isma kuba abadde amwagala nnyo.

Isma ng’omusajja omukulu ategeera ensonga z’omukwano, akoze ebintu eby’enjawulo, okuteeka omuwala mu muudu.

Omuwala agamba nti olufunye muudu, asumuludde zipu era aguggyeyo nga guswakidde era afuniddewo okutya.

Agamba nti wadde Isma abadde amwagala nnyo, waya ebadde esukkiridde obunene n’obuwanvu nga tasobola kwegatta naye era amangu ddala akutte engoye ze, okudduka mu loogi nga Isma ayinza okumukwata.

Omuwala ono, asangiddwa ng’ali bwereere, agamba nti abadde awunze kuba wadde abaddeko n’abasajja ab’enjawulo abasukka mw’omu, Isma abadde munene nnyo.

Omu ku bakozi ayogedde!

Omu ku bawala ku loogi, agaanye okwatuukiriza amannya, agambye nti akoze ku loogi emyaka egisukka 5 kyokka abadde talabangako muwala adduka musajja.

Omukozi agambye nti Isma abadde yapangisizza ekisenge, okumala lunaku lulamba era kasitoma waabwe nnyo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ocll-FcesEY