Abatuuze mu ggoombolola y’e Mpunge mu disitulikiti y’e Mukono, batabukidde Gavumenti, ku nsonga y’okuwaayo ettaka lyabwe eri omuyimbi, munnansi wa America Damala Badara, amanyikiddwa nga Akon, okuzimbako ekibuga, ekiri ku mutindo gw’ensi yonna.

Kinnajjukirwa nti omwaka oguwedde ogwa 2021, wakati mu kulwanyisa Covid-19, Akon ne mukyala we Rozina Negusei baakyalako mu Uganda ne basisinkana abakulembeze ab’enjawulo omuli n’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, baminisita ab’enjawulo, abakulembeze b’eddiini, ne bateese ku nsonga ez’enjawulo, omuli n’okusiga ensimbi mu ggwanga lino.

Akon, omukyala Rozina ne Pulezidenti Museveni mu Uganda

Wadde Akon, baamulambuza ebitundu by’eggwanga ebyenjawulo, yasaba omukulembeze w’eggwanga, okuweebwa ettaka, kwayinza okuzimba ekibuga, nga kiriko buli kintu omuli eddwaaliro, amadduuka, Hoteero ssaako n’ebintu ebirala nga kyagenda okuzimba mu ggwanga lye erya Senegal.

Wabula agava mu disitulikiti y’e Mukono, galaga nti sabiiti ewedde ekitongole ky’ebyettaka mu ggwanga ekya Uganda Land Commission, kyawadde Minisita w’ebyettaka Judith Nabakooba, ekyapa ky’ettaka, Akon kw’agenda okuzimba ekibuga.

Ettaka, okuli abatuuze abasukka mu 1,000 lisangibwa ku byalo bina (4) okuli Bulebi, Sango, Mbazi ne Lulagwe, Akon, kw’agenda okuzimba ekibuga nga liweza ‘square mile’ emu (Yiika 640).

Okusinzira ku ssentebe w’akakiiko k’ebyettaka Prof. Mogi Nyeko, ekyapa ky’ettaka, eryakwasiddwa Minisita, baasobodde okulyekeneenya okuva November, 2020 nga lisangibwa mu kifo ekirungi, okumpi ne Nnyanja Nalubaale emanyikiddwa nga Lake Victoria nga singa bakilongoosa ne basaako ekibuga, kigenda kuyingiza mangu ensimbi omuli okusikiriza abalambuzi.

Wabula abatuuze nga bakulembeddwamu Margret Nabbanja ne Salim Kabanda, bagamba nti bakooye ejjoogo Gavumenti, okutekateeka okuwaayo ettaka lyabwe, nga tewali kubeebuzaako.

Abatuuze balemeddeko nga bagamba nti ku ttaka, kwe bakulidde, okulima okutambuza obulamu n’okusomesa abaana, era kikafuuwe, tebagenda kulivaako nga Akon, waddembe okuddayo mu Senegal, okusindikiriza bannansi baayo.

Eddoboozi lya Kabanda

Wabula Minisita Nabakooba gamba nti ekyapa ky’ettaka ekyamukwasiddwa kiri wansi wa Uganda Land Commission, kwe kusaba Minisitule y’ebyettaka, okunoonyereza ku nsonga z’abatuuze omuli n’abo, abagamba nti balina ebyapa ku ttaka.

Akon nga omuyimbi, amanyikiddwa nnyo olw’ennyimba ze omuli Bananza, Don’t Matter, Lonely, I Wanna Love You, Beautiful, Ghetto n’endala.

Yazaalibwa nga 16, Ogwokuna, 1973 nga mu kiseera kino aweza egy’obukulu 48.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=N4ylVTq6sWE