Gavumenti erangiridde tegenda kussa mukono okutuusa ng’abatembeyi bonna bavudde ku nguudo, okudda mu butale, nga kigendereddwamu okutebenkeza eby’obusuubuzi mu Kampala.

Okusinzira ku Minisita w’amawulire n’okulungamya eggwanga, Dr. Chris Baryomunsi, abatembeyi okuteeka ebintu mu nguudo ne ku mbalaza z’ebizimbe, kyongedde okunyigiriza abasuubuzi, abali mu maduuka ssaako n’ebyobusuubuzi okudobonkana.

Min Baryomunsi

Dr. Baryomunsi, ng’asinzira ku Media Centre mu Kampala enkya ya leero, asambaze ebyogerwa abamu ku bakulembeze mu Kampala omuli omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago ku ky’okusindikiriza abatembeyi mu Kampala era agamba nti eky’okubaggya ku nguudo y’emu ku ngeri y’ okubateekerateekera okudda mu butale, Gavumenti okutegeera omuwendo gwabwe n’ebizibu ebibasomooza.

Eddoboozi lya Baryomunsi

Minisita Baryomunsi agenze okubyogera nga mu Kampala, abakwasa amateeka mu kitongole ki Kampala Capital City Authority (KCCA) nga bayambibwako Poliisi, bali ku ddimu ly’okugyako kiyosiki  zonna eziri ku nguudo.

Kiyosiki ezisukka mu 100 zigiddwa ku nguudo okuli Ben Kiwanuka, Allen Road, Burton Street, ku paaka ya Takisi enkadde, Nkrumah Road, Nasser ssaako n’enguudo endala, ne zitwalibwa mu kibangiriza kya KCCA e Nakawa.

Wadde bangi ku basuubuzi bali mu maziga, akulira okutekateeka mu masekati g’ekibuga Kampala mu kitongole ki KCCA, Villey Agaba, agamba nti olukiiko lwabwe, bakaanya mu 2017, abasuubuzi okuweebwa emyaka esatu (3) okuggya Kiyosiki  zonna ku nguudo, abasuubuzi okudda mu Butale ssaako n’akeedi, okutambuza emirimu gyabwe.

Agaba agamba nti kimenya amateeka okuteeka Kiyosiki mu kibangirizi ky’ekkubo, okutaataganya entambula y’abantu era y’emu ku nsonga lwaki bavuddeyo okubuggyako.

Mu kiseera kino Poliisi n’amaggye bali ku nguudo z’omu Kampala ez’enjawulo, okulemesa abatembeyi okudda ku nguudo, okusobola okuwa omukisa abasuubuzi okusigala nga bakola bulungi mu bizimbe.

Abasuubuzi bagamba nti olw’abatembeyi okuba ku nguudo, tebafuna ssente ate nga bagibwako omusolo n’emisoso egy’enjawulo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=abuAb2UHN7E