Kyaddaki Salim Rashid Mohammed amanyikiddwa nga Chotara akwattiddwa ku misango gy’obutujju.

Mohammed, abadde anoonyezebwa Congo ne Uganda olw’okuwagira abatujju bakabinja ka Allied Democratic Forces (ADF).

Okusinzira ku mawulire agava mu ggwanga erya Congo, Mohammed abadde agezaako okudduka mu ggwanga olw’okutya, okwattibwa bannamaggye ba Uganda Peoples Defence Forces (UPDF) n’amaggye g’e Congo.

Mu kiseera kino Mohammed, bamusibidde mu kibuga Beni.

Omutujju ono Mohammed myaka 28, munnansi w’eggwanga erya Kenya, Gavumenti mu ggwanga erya Kenya ebadde emunoonya ku misango gy’obutujju.

Ebitongole byokwerinda bigambibwa nti Mohammed, abadde agezaako okudduka, okwesoga abatujju bakabinja ka Islamic State okuva mu Iraq ne Isis mu ggwanga lya Syria.

Mohammed, y’omu ku bantu abaludde nga bayingiza abaana abato obutujju.

Wabula Maj. Peter Mugisa, omwogezi w’ekikwekweeto ekinoonya abatujju okuva mu UPDF mu ggwanga erya Congo, agamba nti Mohammed baamukwatidde mu bitundu bye Mantumbi era kati ali mu mikono gy’ebyokwerinda.

ADF yatandikibwawo mu mwaka gwa 1995 nga bali nnyo mu Uganda ne Democratic Republic of the Congo era abantu bangi nnyo battiddwa.

Ate omulamuzi Dr. Douglas Singiza owa Buganda Road, alangiridde olunnaku olw’enkya ku Lwokusatu ku ssaawa 9 ez’akawungeezi okuwa ensala ye ku ky’okukkiriza omuwandiisi w’ebitabo Kakwenza Rukirabasaija, okuddukira mu ggwanga erya Germany okufuna obujanjabi.

Kakwenza mu kkooti

Kakwenza ali ku misango gy’okuvuma ssentebe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ssaako ne mutabani we era omuddumizi w’eggye ly’okuttaka Lieutenant General Muhoozi Kainerugaba myaka 47 nga tumalako omwaka oguwedde ogwa 2021 ku mukutu gwa Twitter.

Mu kkooti enkya ya leero, oludda oluwaabi nga lukulembeddemu Joan Keko, bategezezza omulamuzi nti Poliisi yakomekereza okunoonyereza, kwe kusaba omulamuzi okuteekawo olunnaku, okutandiika okuwuliriza omusango.

Wabula bannamateeka ba Kakwenza nga bakulembeddwamu Aron Kizza ne Richard Wadda, bagambye nti Kakwenza mulwadde nga yatulugunyizibwa ebitongole ebikuuma ddembe bwe yali akwattiddwa nga n’omusango temuli nsa.

Munnamateeka Kizza, kwe kusaba omulamuzi, Kakwenza okumudiza paasipooti ye, eyamugibwako bwe yali yeyimirirwa, asobole okuddukira mu ggwanga erya Germany, okufuna obujanjabi.

Omulamuzi Dr. Singiza kwe kulangirira olunnaku olw’enkya ku ssaawa 9, okuwa ensala ye ku nsonga ya Kakwenza, okumukkiriza okufuna obujanjabi mu ggwanga lya Germany n’okuwa olunnaku, lw’okutandiika okuwuliriza omusango.

Oluvudde mu kkooti, munnamateeka Wadda agamba nti bagenda kusaba omulamuzi, omusango gugobwe kuba tebalina bujjulizi.

Kakwenza yakwatibwa nga 28 December, 2021 kyokka ku Lwokubiri nga 25, January, 2022, yayimbuddwa kakalu ka kkooti.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=MwEsXY-eWeA&t=111s