Omuwandiisi w’ebitabo Kakwenza Rukirabashaija, awanjagidde kkooti ku Buganda Road okumukkiriza ayimbulwe, asobole okufuna obujanjabi nga bamutulugunya nnyo.

Kakweza, asimbiddwa mu kkooti mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka Dr Douglas Singiza ng’ali ku ‘Zoom’ okuva mu kkomera e Kitalya enkya ya leero.

Kakweza ali ku misango ebiri (2) egy’okuvuma.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, Kakwenza nga 24, Desemba, 2021 yavuma ssentebe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ku mukutu ogwa ‘Twitter’ ate nga 26, Desembe, 2021 yaddamu okuvuma, mutabani w’omukulembeze w’eggwanga lino era omuddumizi w’eggye ly’okuttaka Lieutenant general Muhoozi Kainerugaba.

Kakwenza mu kkooti

Wadde asabye okweyimirirwa, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Joan Keko, basabye okuboongera akadde nga bakyanoonyereza ku misango gye.

Bannamateeka be nga bakulembeddwamu Eron Kiiza ne Samuel Wanda, bagamba nti omuntu waabwe, ali mu mbeera si nungi nga yetaaga okufuna obujanjabi obutali mu kkomera, ng’ebitongole ebikuuma ddembe byamutulugunya mu kiseera ng’akwattiddwa.

Mu kkooti, baleese ebbaluwa ya Dr James Kisambu olwa ssenkulu w’ekitongole eky’amakkomera, okulaga nti ddala Kakwenza yafuna obuzibu ku kiwanga.

Mungeri y’emu baleese abantu 4, okumweyimirira okuli okuwandiisi w’ekibiina ki NUP David Lewis Rubongoya, munnamateeka Julius Galisonga, omusomesa ku Kololo Secondary School, Annah Ashaba n’omulwanirizi w’eddembe Job Kiija.

Wabula omuwaabi wa Gavumenti Joan Keko, asambaze ebbaluwa ya Dr James Kisambu okulaga nti ddala Kakwenza yafuna ekizibu ku kawanga bwe yali akwattiddwa ate singa ayimbulwa, ayinza okutaataganya okunoonyereza kwabwe.

Mungeri y’emu asabye kkooti, nti singa aba wakuyimbulwa, alina okuleeta paasipooti ye mu kkooti ne Ndaga muntu, kuba ayinza okudduka mu ggwanga.

Omulamuzi Dr. Singiza alangiridde sabiiti ejja ku Lwokubiri nga 25, omwezi guno ogwa Janwali, 2022, okuwa ensala ye ku nsonga eyo.

Oluvudde mu kkooti, munnamateeka Kiiza agambye nti Kakwenza talina buyinza wadde obusoobozi okutaataganya okunoonyereza kuba muntu wabuligyo ng’abantu abalala.

Kakwenza yakwattibwa nga 28, Desemba, 2021 era yamala wiiki ezisukka mu 2 ng’ali mu mikono gy’ebitongole ebikuuma ddembe.

Wadde bannamateeka be baddukira mu kkooti, okuli e Makindye ne kkooti enkulu mu Kampala, okusaba Kakwenza okuyimbulwa kuba yali asusizza essaawa 48 ng’ali mu mikono gy’ebitongole ebikuume ddembe, ku Lwokusatu nga 12, Janwali, 2022, yatwalibwa mu kkooti.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=zVJz6Oi-jjw