Kyaddaki Palamenti etandiise entekateeka z’okuleeta etteeka, okangavula abantu bonna, abegumbulidde okweyambisa emitimbagano omuli ace Book, Twitter, WhatsApp n’emirala, okutambuza amawulire ag’obulimba, okusiiga abantu enziro, okuwayiriza, okuvuma ssaako n’okuwebuula abakulembeze.

Okusinzira ku kw’amyuka sipiika Anita Among, abadde akubiriza Palamenti akawungeezi ka leero, okutambuza amawulire ag’obulimba kweyongedde mu ggwanga n’okweyambisa emikutu migatta bantu mu ngeri emenya amateeka, nga betaaga etteeka, okulambika abagyeyambisa.

Sipiika Among

Ensonga eyo, okuggya mu ddiiro, kivudde ku sipiika wa Palamenti okwaniriza Minisita w’ebigwa tebiraze, Hillary Onek abadde mu Palamenti akawungeezi  ka leero ate nga olunnaku olw’eggulo, waliwo abaasobodde okweyambisa emikutu migatta, okutegeeza nti z’embuyaga ezikunta.

Sipiika agamba nti etteeka, ligenda kuyamba nnyo okumalawo ebizibu ng’ebyo mu ggwanga lyonna.

Eddoboozi lya sipiika

Okusaba kwa sipiika nti betaaga etteeka, kiwagiddwa omubaka wa Kampala Central Muhammad Nsereko era asuubiza nti essaawa yonna, wakusaba Palamenti okumukkiriza agende mu luwumula, okutekateeka ebbago ku ngeri y’okweyambisa emitimbagano n’okusingira ddala Face Book.

MP Nsereko ku bya Face Book

Nsereko agamba nti mu tteeka, omuntu yenna wakutanzibwa ensimbi, okusinzira ku muntu gw’akozeeko obulumbaganyi, kuba kivuddeko abantu bangi, okusigala nga bali maziga.

Entekateeka eno, okuleeta etteeka ku ngeri y’okweyambisa emikutu migatta bantu, Gavumenti esuubiza okugiwagira.

Okusinzira ku Nampala wa gavumenti Thomas Tayebwa, okweyambisa emitimbagano mu ngeri emenya amateeka kusukkiridde.

Tayebwa, agamba nti waliwo abantu abefudde banantagambwako abeyambisa emitimbagano okulumbagana banaabwe, nga ye ssaawa okuleeta etteeka okubakakanya.

Mungeri y’emu Gavumenti evuddeyo ku nsonga y’okusomesa abaana abato, abali mu kibiina eky’omukaaga (P6) ebikwata ku nsonga z’okuzaala, mu kaliculamu empya eyatongozeddwa.

Mu Palamenti akawungeezi ka leero, Minisita w’ebyenjigiriza ebisookerwako Dr. Joyce Moriku Kaducu, agambye nti wadde okusomesa abaana abato ku nsonga ezo, bangi ku bakulembeze ssaako n’abazadde wakyaliwo okusika omuguwa, kyatongozeddwa okwongera okuyamba abaana.

Minisita Kaducu

Minisita agamba nti, okusomesa abaana ku by’okuzaala nga bali mu kibiina eky’omukaaga, kigenda kuyambako okwongera okutekateeka abaana, okumanya ebikwata ku by’okuzaala, okwewala okufuna embutto ku myaka emito, okutangira okubasobyako n’okutegeera ensobi, eziri mu kwegandanga ku myaka emito.

Wadde Minisita Kaducu alambuludde ensonga ezo, sipiika Among, amusindise mu kakiiko ka Palamenti ek’ebyenjigiriza, okwongera okwekeneenya ku nsonga ezirambikiddwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=rmhWCHXrAv8&t=12s