Ekitongole kya poliisi ekikessi kiriko ababbi, abali mu kunoonyezebwa, abaludde nga begumbulidde okuteega abantu mu kubbo, ku makya nga bagenda okukola, akawungeezi nga banyuse ssaako n’ekiro, okunyaga ebintu byabwe.

Ababbi abanoonyezebwa bali wakati w’emyaka 17 – 25, nga basibuka mu bitundu okuli Kinyoro, Buligwanga, Kisenyi-Mengo ne mu nzigota ze Katwe nga gye basiiba nga bali mu kutendekebwa mu ggiimu.

Okusinzira ku mwogezi w’ekitongole ekikessi Charles Twine, ababbi baludde nga batigomya abatuuze mu bitundu bye Kabalagala, Muyenga ssaako n’ebitundu bya Kampala eby’enjawulo.

Okunoonyereza kulaga nti, omwezi oguwedde nga 25, Janwali, 2022, waliwo omukyala omuzungu, omukungu munnansi wa Austria, eyali azze mu Uganda, okutendeka ekitongole ekiwaabi, wabula abasajja abaali ku Pikipiki namba UED 192N, basuula emisanvu mu kubbo ku luguudo lwe Muyenga.

Mu ddakiika 5 zokka, ensawo omwali amassimu, ssente, laptop babitwala ne baleka omukyala ng’akubiddwa.

Twine, agamba nti ababbi beyongedde okutigomya abagwira, wabula okusuula enkessi kweyongedde bonna okubakwata nga balina mukama waabwe Robert Nseeke amanyikiddwa nga Toroba nga naye kafulu mu kubba Pikipiki.

Ate Poliisi mu bitundu bye Kiira, efulumiza Pulaani ya myaka 5, gye bagenda okutambulirako, okutebenkeza ekitundu kyabwe n’okulwanyisa obuzzi bw’emisango.

Mu myaka 5, amaanyi bagenda gateeka nnyo mu kulwanyisa obutujju, okusobya ku bakyala n’abaana, okendeza okubisa eryannyi omuli emmundu n’okulwanyisa okukendeza abakyala abasamba ogwensimbi, abeyongedde mu kitundu kyabwe.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira – Jinja, James Mubi, olwa bakyala okwetunda, kivuddeko ebikolobero okweyongera omuli abasajja okulwanira abakyala, ekivuddeko abamu okuttibwa, obubbi okweyongera, obutabanguko mu maka ssaako n’endwadde okweyongera okusasaana.

Mubi agamba nti Bamalaaya bonna mu kitundu kyabwe balina ennaku 15 zokka okuva mu bitundu bye Kiira – Jinja kuba kiyinza okuyamba okutebenkeza embeera.

Ate ku nsonga y’okulwanyisa obutujju, Mubi asabye abatuuze abalina amawulire okweyambisa Poliisi mu bitundu byabwe okuyambagana mu kulwanyisa abantu abakyamu mu kitundu.

Mubi era agamba nti abatuuze balina okuvaayo okuwa Poliisi amawulire ku basajja abegumbulidde okusobya ku baana abato.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Vs3KOMkzk0Q