Kyaddaki Poliisi evuddeyo ku nsonga y’omuntu, eyakulembeddemu okutimba ebipande, ebiriko engeri y’okutisatiisa, okutta omuntu.
Ebipande ebiri mu kutambula ku mikutu migatta bantu, kigambibwa byavudde mu bitundu bye Kawempe nga birabula omusajja Latif Sebagala.
Ebipande ebitimbiddwa ku bintu ebyenjawulo omuli ebikondo by’amasanyalaze ssaako n’amayumba, waliwo omusajja alabudde Latif Sebagala okwesonyiwa mukyala we.
Omusajja agamba nti abeera kumpi n’essomero lya Taibah International era mbu Latif Sebagala amumanyi bulungi ddala kyokka essaawa yonna asuubire okufa olw’okusigula mukyala we.
Omusajja agamba nti Latif Sebagala aliko omuwala, gwe yatikka olubuto mu bitundu bye Kiganda.
Omusajja y’omu era agambye nti Latif Sebagala alina bakyala be, Kawempe 2 Kazo mu Angola ne Kawempe ku tano era amutegeera bulungi ddala.
Amulabudde nti akooye ejjoogo era mu nnaku 2 zokka, bagenda gasimbagana.
Wabula omulung’amya wa Poliisi mu nsonga z’obufuzi AIGP Asan Kasingye asabye Latif Sebagala okuvaayo ku nsonga y’okumutisatiisa.

Asan Kasingye ng’asinzira ku mukutu ogwa Twitter, agambye nti ye ssaawa okweyambisa amateeka nga Latif, alina okweyambisa Poliisi okuyambibwa.
Mu kiseera kino Latif Sebagala, ayogerwako tamanyikiddwa.
Kinnajjukirwa nti ku Mmande ya sabiiti eno, Poliisi yavaayo ku nsonga y’obwenzi, obweyongedde okusanikira eggwanga lino.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, obwenzi n’okusigula muk’omusajja si musango, oguyinza okusibisa omuntu yenna.
Enanga yategeeza nti ensonga bwezityo, balina kweyambisa bassentebe ku byalo, abakulembeze b’eddiini oba omuntu yenna omukulu, ayinza okuyingira mu nsonga zaabwe.
Agamba Poliisi evaayo singa mubaamu eky’okutta omuntu oba okwonoona ebintu.
Mu kiseera kino abatuuze bali mu kwebuuza Latif ayogerwako ddala yani?
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=l0zd25D2KbU&t=323s