Kyaddaki omukulembeze w’eggwanga erya Kenya Uhuru Kenyatta mu butongole alangiridde okuwagira Raila Odinga okudda mu bigere bye ng’omukulembeze w’egwanga erya Kenya mu kulonda okubindabinda nga 9, Ogwomunaana, guno omwaka ogwa 2022.

Kenyatta awanjagidde bannansi mu ggwanga lyonna okuwagira n’okulonda Odinga kuba ye musajja omutuufu, okutwala eggwanga mu maaso.

Mungeri y’emu agambye nti Odinga, ategeera eggwanga gyerigenda nga singa alondebwa, agenda kuwulira bulungi, ng’amukwasa obuyinza.

Odinga agenda kulemberamu ekisinde ki Swahili for “pledge of unity” nga kirimu ebibiina ebisukka 10 okuli ne Orange Democratic Movement ne Jubilee ekya Kenyatta.

William Ruto

Agava mu ggwanga erya Kenya, galaga nti William Ruto agenda kulemberamu ekisinde ki United Democratic Alliance, okuvuganya ku bukulembeze bw’eggwanga eryo.

Kenyatta ne Ruto baafuna obutakaanya oluvanyuma lw’okulonda kwa 2017 nga kivudde ku Kenyatta okusembeza Odinga ku kyatuumibwa ‘handshake’ 2018.

Wabula Kenyatta agamba nti ye mwetegefu okuwagira Ruto, singa akyusa mu ndaba y’ebintu newankubadde ku mulundi guno, agenda kuwagira Odinga ku lw’obulungi bwa Kenya.

Okulangirira, Kenyatta abadde asisinkanyeko abakulembeze abenjawulo okuva masekati g’e Kenya mu maka g’omukulembeze w’eggwanga ag’e Sagana State Lodge mu katawuni k’e Kiganjo mu ssaza lye Nyeri.

Kenyatta era yagambye nti okulemagana ne Ruto ku nkola y’emirimu mu kisanja eky’okubiri nga Ruto ali mu kunoonya kalulu mu kifo ky’okuwereza abantu, y’emu ku nsonga lwaki yamusuddewo ku lwa Odinga ate Ruto y’omu ku basajja abakutte akati mu kubba ensimbi z’eggwanga omuli ezaali ez’okuzimba ddaama z’amazzi.

Okusinzira ku sseemateeka w’eggwanga erya Kenya, omukulembeze w’eggwanga yenna, alina omukisa okulembera ebisanja bibiri (2) singa alondebwa era Kenyatta, takkirizibwa kuddamu kwesimbawo, ali kumalayo kisanja kye eky’okubiri.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=TdP5IofQMQs