Ebipya byongedde okuzuuka ku muliro ogwasanyizaawo ekimu ku kizimbe ky’essomero lya Bilal e Bwaise, ogulese ng’ebintu bya bukadde bisaanyiziddwawo.
Essomero wadde kuliko Primary ne Secondary, omuliro, gwasanyizaawo ekizimbe omusula abayizi ba S1 ne S2 abalenzi ku ssaawa nga satu n’ekitundu (3:30) ez’ekiro ekikeeseza olwaleero.
Ebintu byonna omuli engoye, ebitabo, emifaliso byonna byafuuse vvu.
Wakati ng’abakulembeze mu kitundu, abakulu ku ssomero ssaako n’ebitongole byokwerinda, bakyebuuza ekyavuddeko omuliro, omu ku bayizi amannya gasirikiddwa abotodde ekyama.

Omuyizi agamba nti ku ssaawa 3:30 ez’ekiro, waliwo abasajja babiri (2) abayingidde mu ssomero nga bakutte ekidomola.
Agamba nti ekidomola kyabadde kyamafuta era webatuuse mu kizimbe omusula abayizi ba S1 ne S2 ne bagamansa mu kizimbe, oluvanyuma omu ku basajja nakoleeza omuliro.
Mungeri y’emu omuwala agamba nti, asikaali obutamanya bakozi bonna ku ssomero nga n’abayisiraamu mu kitundu ekyo, okweyambisa ggeeti y’emu nga bagenda okusaala akawungeezi, y’emu ku nsonga lwaki abakyamu, basobodde okweyambisa omukisa ogwo, okuyingira mu ssomero.
Ate meeya we Kawempe Dr. Emmanuel Sserunjogi agamba nti bo ng’abakulembeze bakyasobeddwa ku kivuddeko omuliro massomero kweyongera.
Dr. Sserunjogi agamba nti bo ng’abakulembeze balina okuvaayo okusalira ensonga eyo amagezi omuli okuteekawo amateeka agatangira omuliro massomero wadde mu kiseera kino okunoonyereza kutandiise okuzuula ekituufu ekyavuddeko omuliro.

Abamu ku bazadde abakedde ku ssomero, baganiddwa okuyingira okugyako abazadde abalina abaana abalenzi mu S1 ne S2.
Abazadde basigadde bakiikidde essomero ensingo olw’okubalemesa okuyingira newankubadde tewali muyizi yenna yafiiridde muliro.
Omusasi waffe Nalule Aminah bwabadde awayamu n’abazadde, bagambye nti kiswaza okubalemesa okuyingira ate nga mu kiseera kino abaana betaaga abazadde okubagumya.
Okusinzira kiwandiiko ekiteekeddwa ku ggeeti y’essomero abayizi bonna abava awaka, balagiddwa okudda ku ssomero ku Lwokusatu nga 2, omwezi ogujja Ogwokusatu, 2022 ate abayizi bonna abali S1 ne S2 balagiddwa okudda wiiki ejja.
Ate bo abazadde abalina abayizi abasula mu ssomero nga bali mu S1 ne S2 nabo, bakkiriziddwa okutwala abayizi baabwe okutuusa wiiki ejja.
Mu kiseera kino Poliisi ya abazinya mwoto eri ku ssomero okunoonyereza okuzuula ekituufu, ekyavuddeko omuliro, okuwa abazadde alipoota.
Ate omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago omu ku bakedde okulambula ku ssomero eryakutte omuliro, agamba nti omuliro oguli massomero tewali kubusabuusa kwonna, waliwo abookya amassomero.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=lk1LfXj1A_8
Bya Nalule Aminah