Taata kutte mutabani we ng’ali mu kaboozi ne nnyina ekivuddeko okulwanagana mu bitundu bye Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso.
Taata ategerekeseeko erya Musa, yafuna omukyala omulala omuwala omuto ali mu gy’obukulu 25 ategerekeseeko erya Musa erya Madina oluvanyuma lwa mukyala we omukulu, okunoba mu bufumbo.
Musa ali mu gy’obukulu 50 ne mukyala we omukulu, baali balina abaana bataano (5) ng’omulenzi omukulu ali mu myaka 28 ategerekeseeko erya erya Hakim.
Hakim naye musajja mufumbo era mutemi wa nnyama mu katawuni k’e Nansana.
Wabula akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, Musa yakomyewo awaka ku ssaawa nga 12 kwe kusanga Pikipiki ya mutabani we Hakim mu luggya.
Taata Musa wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti okuyingira mu nnyumba, kwe kusanga mutabani we Hakim ng’ali mu kaboozi ne mukyala we, maama we omuto.
Amangu ddala, Hakim yasobodde okwambala engoye okudduka kuba kitaawe Musa yabadde akutte ejjambiya okumutematema ate omukyala Madina, yesibidde mu kisenge.
Oluvanyuma lw’abatuuze okuggya kuba Musa yabadde akubye enduulu okuyambibwa, Madina yavudde mu kisenge wakati mu kuswala.
Madina ayogedde!
Madina agamba nti bba Musa asukkiridde okwebuzabuza mu nsonga z’omu kisenge nga buli kiro, abeera mu kufuluuta.
Agamba nti ye akyali muwala muto nga yetaaga omusajja ategeera obulungi ensonga z’okusinda omukwano kyokka bba Musa, mu wiiki, ayinza okukiika omulundi gumu (1) oba emirundi 3 mu mwezi omulamba.
Madina era agamba nti ennyonta y’omu kisenge, y’emu ku nsonga lwaki abadde yasalawo okusembeza Hakim, okutaasa kitaawe okufuna ku ssanyu ly’omu kisenge.
Ssemaka Musa ayogedde!
Musa agamba nti wadde mukyala we Madina abadde amwagala nnyo, akooye ejjoogo era tasobola kumukkiriza kusigala mu makaage.
Mungeri y’emu agamba nti ye musajja musuubuzi era akoowa nnyo nga y’emu ku nsonga lwaki, tasobola kuba mu kaboozi buli mwaka.
Musa ng’ali mu maziga, yalangiridde nti Hakim, mutabani we okudda ku mukyala we, kikolwa kya bujoozi era amuzalukuse.
Abatuuze balabudde abasajja!
Abamu ku batuuze bagamba nti kikyamu abasajja abakulu okudda ku bawala abato ate nga tebasobola kubawa budde.
Bagamba nti wadde omwana Hakim yakoze nsobi okudda ku nnyina omuto, n’omusajja yakola nsobi okuleeta omuwala omuto mu bufumbo.
Bagamba wadde omukyala omukulu yali yageenda, Musa yandibadde anoonya omukyala ali mu myaka gye.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=BaHaB58s1hw